1Nnyimusa amaaso gange gy’oli, Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.
2Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe; n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we , n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe, okutuusa lw’alitusaasira.
3Tusaasire, Ayi Mukama , tusaasire, kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala.
4Emitima gyaffe gijjudde ennaku olw’okuduulirwa abo abeeyagala, n’okunyoomebwa ab’amalala.