Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 122

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Nasanyuka bwe baŋŋamba nti, “Tugende mu nnyumba ya Mukama !”
2Ebigere byaffe biyimiridde mu miryango gyo, Ayi Yerusaalemi.
3Yerusaalemi yazimbibwa okuba ekibuga ekinywevu ekiyimiridde awamu.
4Eyo ebika byonna gye biraga, ebika bya Mukama , okutendereza erinnya lya Mukama ng’ebiragiro ebyaweebwa Isirayiri bwe biri.
5Eyo entebe ez’okusalirako emisango gye zaateekebwa; z’entebe ez’obwakabaka ez’ennyumba ya Dawudi.
6Musabirenga Yerusaalemi emirembe: “Abo abakwagala bafune ebirungi.
7Emirembe gibeerenga munda w’ebisenge byo; n’amayumba go amanene gabeerenga n’omukisa era nga manywevu.”
8Olwa baganda bange ne mikwano gyange nnaayogeranga nti, “Emirembe gibeerenga mu ggwe.”
9Olw’obulungi bw’ennyumba ya Mukama Katonda waffe, nnaanoonyanga okukulaakulana kwa Yerusaalemi.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.