Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Isaaya 26

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Mu biro ebyo oluyimba luno luliyimbibwa mu nsi ya Yuda. Tulina ekibuga eky’amaanyi; Katonda assaawo obulokozi okuba bbugwe waakyo n’ekigo kyakyo.
2Ggulawo wankaaki, eggwanga ettukuvu liyingire, eggwanga erikuuma okukkiriza.
3Mukama alikuuma mirembe oyo amaliridde okumwesiga mu mutima gwe.
4Weesigenga Mukama ennaku zonna, kubanga emirembe giri waggulu mu Mukama , Mukama Katonda oyo atoowaza.
5Mukama lwe lwazi olutaggwaawo, akkakkanya ekibuga eky’amalala, akissa wansi ku ttaka, n’akisuula mu nfuufu.
6Kirinnyirirwa ebigere by’abanyigirizibwa, n’ebisinde by’abaavu.
7Ekkubo ly’abatuukirivu ttereevu; Ggwe atuukiridde, olongoosa olugendo lw’omutuukirivu.
8Weewaawo Mukama Katonda tukulindirira nga tutambulira mu mateeka go, era erinnya lyo n’okumanyibwa kwo kwe kwegomba kw’emitima gyaffe.
9Omwoyo gwange gukuyaayaanira mu kiro, omwoyo gwange gukunoonyeza ddala. Bw’osalira ensi omusango, abantu b’ensi bayiga obutuukirivu.
10Omukozi w’ebibi ne bw’akolerwa ebyekisa, tayiga butuukirivu. Ne bw’abeera mu nsi ey’abatuukiridde, yeeyongera kukola bibi, era talaba kitiibwa kya Mukama Katonda.
11Mukama Katonda omukono gwo guyimusibbwa waggulu, naye tebagulaba. Ka balabe obunyiikivu bwo eri abantu bo baswazibwe, omuliro ogwaterekerwa abalabe bo ka gubamalewo.
12Mukama Katonda, otuteekerateekera emirembe, n’ebyo byonna bye tukoze, ggw’obitukoledde.
13Ayi Mukama Katonda waffe, abafuzi abalala batufuze nga wooli naye erinnya lyo lyokka lye tussaamu ekitiibwa.
14Baafa, tebakyali balamu; egyo emyoyo egyagenda tegikyagolokoka. Wababonereza n’obazikiriza, wabasaanyizaawo ddala bonna, ne watabaawo akyabajjukira.
15Ogaziyizza eggwanga, Ayi Mukama Katonda ogaziyizza eggwanga. Weefunidde ekitiibwa, era ogaziyizza ensalo zonna ez’ensi.
16Mukama Katonda, bajja gy’oli mu nnaku yaabwe, bwe wabakangavvula, tebaasobola na kukusaba mu kaama.
17Ng’omukyala ow’olubuto anaatera okuzaala, bw’alumwa n’akaaba mu bulumi, bwe tutyo bwe twali mu maaso go, Ayi Mukama Katonda.
18Twali lubuto, twalumwa, naye twazaala mpewo Tetwaleeta bulokozi ku nsi, tetwazaala bantu ba nsi.
19Naye abafiira mu ggwe balirama, emibiri gyabwe girizuukira. Mugolokoke, muleekaane olw’essanyu. Ssuulwe wo ali ng’omusulo ogw’oku makya, ensi erizaala abafudde.
20Mugende abantu bange muyingire mu bisenge byammwe muggalewo enzigi zammwe. Mwekweke okumala akabanga katono, okutuusa ekiruyi kye lwe kirimuggwaako.
21Weewaawo laba Mukama Katonda ava mu kifo kye gy’abeera okubonereza abantu b’ensi olw’ebibi byabwe. Ensi erikwekula omusaayi ogwagiyiikako, era teriddayo nate kukweka abattibwa.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.