Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Isaaya 25

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Ggwe, Ayi Mukama , gwe Katonda wange; ndikugulumiza ne ntendereza erinnya lyo, kubanga okoze ebintu eby’ettendo, ebintu bye wateekateeka edda, mu bwesigwa bwo.
2Ekibuga okifudde ntuumu ya bisasiro, ekibuga ekiriko ekigo okifudde matongo, ekibuga omwaddukiranga bannaggwanga tekikyali kibuga, tekirizimbibwa nate.
3Abantu ab’amaanyi kyebaliva bakussaamu ekitiibwa n’ebibuga eby’amawanga ag’entiisa birikutya.
4Ddala obadde kiddukiro eri abaavu, ekiddukiro eri oyo eyeetaaga, ekiddukiro ng’eriyo embuyaga n’ekisiikirize awali ebbugumu. Omukka gw’ab’entiisa guli ng’embuyaga ekuntira ku kisenge
5era ng’ebbugumu ery’omu ddungu. Osirisa oluyoogaano lw’abannaggwanga, era ng’ekisiikirize eky’ekire bwe kikendeeza ebbugumu, n’oluyimba lw’abakambwe bwe lusirisibwa.
6Ku lusozi luno Mukama Katonda ow’Eggye aliteekerateekerako abantu bonna ekijjulo eky’emmere ennungi, n’embaga eya wayini omuka n’ennyama esingayo obulungi, ne wayini asinga obulungi.
7Ku lusozi luno alizikiriza ekibikka ekyetoolodde abantu bonna, n’eggigi eribikka amawanga gonna,
8era alimalirawo ddala okufa. Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna, era aliggyawo okuswazibwa kw’abantu be mu nsi yonna. Mukama ayogedde.
9Mu biro ebyo balyogera nti, “Eky’amazima oyo ye Katonda waffe; twamwesiga n’atulokola. Ono ye Mukama Katonda twamwesiga; tusanyukire mu bulokozi bwe, era tumujagulizeemu.”
10Ddala omukono gwa Mukama Katonda guliwummulira ku lusozi luno, naye Mowaabu alirinnyirirwa wansi we, ng’essubi bwe lirinnyirirwa okukolamu ebijimusa.
11Aligolola emikono gye, ng’omuwuzi bw’agolola emikono gye ng’awuga. Katonda alikkakkanya amalala ge newaakubadde ng’emikono gye gikola eby’amagezi.
12Alimenya bbugwe omuwanvu, n’amusuula, alimusuula ku ttaka, mu nfuufu.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.