Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Isaaya 17

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1“Laba Ddamasiko tekikyali kibuga, kifuuse matongo.
2Ebibuga bya Aloweri babidduseemu: birirekerwa ensolo mwe zinaagalamiranga nga tewali azikanga.
3Ekigo eky’amaanyi kirisaanyizibwawo mu Efulayimu, n’obwakabaka mu Ddamasiko bulimalibwawo; naye abalisigalawo mu Busuuli, baliba n’ekitiibwa ng’eky’abaana ba Isirayiri,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
4“Awo olulituuka ku lunaku luli, ekitiibwa kya Yakobo kirikendeera; era akoggere ddala.
5Ne kiba ng’omukunguzi bw’akuŋŋaanya eŋŋaano, n’omukono gwe ne gukungula empeke; weewaawo kiriba ng’omuntu bw’alonda ebinywa by’eŋŋaano mu Kiwonvu kya Lefayimu.
6Naye mulisigalamu ebinywa ebirondererwa ng’omuzeyituuni bwe gubeera nga gukubiddwa, ne guleka ebibala bibiri oba bisatu waggulu ku busongezo, bina oba bitaano ku busongezo bw’omuti omugimu,” bw’ayogera Mukama , Katonda wa Isirayiri.
7Ku lunaku luli abantu balirowooza ku Mutonzi waabwe, n’amaaso gaabwe galikyukira Omutukuvu wa Isirayiri.
8So tebalirowooza ku byoto bya balubaale baabwe, emirimu gy’emikono gyabwe, be beekolera, oba empagi za katonda wa Baasera oba ebyoto kwe bootereza obubaane.
9Mu biro ebyo ebibuga byabwe eby’amaanyi Abayisirayiri bye baabalesa, biriba ng’ebifo ebyameramu ebisaka ne kalandalugo. Byonna birisigala matongo.
10Weerabidde Katonda Omulokozi wo, so tojjukidde Lwazi lwa maanyi go; kyova osimbamu ebisimbe eby’okukusanyusa n’osigamu omuzabbibu oguvudde ebweru.
11Wadde obisimba bulungi nnyo ne bimera ku lunaku lw’obisimbye, era ne bimerusa ensigo ku makya kwennyini kwe bisimbiddwa, tolibaako ky’okungula wabula obulumi obutawonyezeka n’ennaku ey’ekitalo.
12Woowe oluyoogaano olw’amawanga amangi, bawuluguma ng’okuwuluguma kw’ennyanja esiikuuse! Okuwuluguma kw’abantu, bawuluguma ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi!
13Wadde amawanga galiwuuma n’okuwulikika ne gawulikika ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi, Mukama bw’aligagoba, galibulawo mbagirawo. Galiba ng’ebisusunku bwe bitwalibwa empewo; era ng’enfuufu ekunta nga yeetooloola, enkuba ng’eneetera okutonnya.
14Entiisa ey’amaanyi eribagwako akawungeezi. Buliba tebunnakya ng’abalabe bonna tewakyali. Guno gwe mugabo gw’abo abatunyaga, era y’empeera y’abo abatunyagako ebyaffe.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.