Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Isaaya 16

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1“Muweereze abaana b’endiga eri oyo afuga ensi, okuva e Seera, ng’oyita mu ddungu, okutuuka ku lusozi lwa Muwala wa Sayuuni.
2Ng’ennyonyi ezabulwako ekisu n’ezisaasaana nga zidda eno n’eri, bwe batyo bwe baliba abawala ba Mowaabu awasomokerwa Alunooni.
3“Tuwe ku magezi, tubuulire, tukole tutya? Mutusiikirize mubeere ng’ekittuluze wakati mu ttuntu, Abajja bagobebwa mubakweke, abajja badaaga temubalyamu lukwe.
4Muleke aba Mowaabu abajja bagobebwa babeere nammwe. Mubataakirize oyo ayagala okubamalawo.” Omujoozi bw’aweddewo, n’okubetentebwa ne kuggwaawo; omulumbaganyi aliggwaawo mu nsi.
5Entebe ey’obwakabaka eryoke etekebwewo mu kwagala, era ku yo kutuuleko omufuzi ow’omu nnyumba ya Dawudi alamula mu bwesigwa era anoonya obwenkanya era ayanguwa okukola eby’obutuukirivu.
6Tuwulidde amalala ga Mowaabu, nga bw’ajjudde okwemanya, n’amalala ge n’okuvuma; naye okwemanya kwe tekugasa.
7Noolwekyo leka Mowaabu akaabe, leka buli muntu akaabire ku Mowaabu. Mukungubage, musaalirwe obugaati bw’emizabbibu egy’e Kirukalesesi.
8Ennimiro ez’e Kesuboni zikaze, n’emizabbibu gy’e Sibuma giweddewo. Abafuzi b’amawanga batemeddewo ddala emiti gyabwe egyasinganga obulungi, egyabunanga ne gituuka e Yazeri nga giggukira mu ddungu n’emitunsi nga gibuna nga gituukira ddala mu nnyanja.
9Noolwekyo kyenva nkaaba amaziga nga Yazeri bw’akaaba olw’omuzabbibu ogw’e Sibuma. Nakufukirira nkutobye n’amaziga gange, ggwe Kesuboni ne Ereyale: kubanga essanyu ery’ebibala byo n’ebyokukungula byo lizikiziddwa.
10Ennimiro engimu ziweddemu essanyu n’okweyagala; ne mu nnimiro z’emizabbibu temuliba ayimba wadde aleekaana; mu masogolero temulibaamu musogozi asogoleramu nvinnyo; okuleekaana kw’omusogozi ng’asogola kukomye.
11Omutima gwange kyeguva gukaabira Mowaabu mu ddoboozi ng’ery’ennanga, emmeeme yange munda n’ekaabira Kirukeresi.
12Awo Mowaabu bw’alyeyanjula, mu bifo ebigulumivu, alyekooya yekka; bw’aligenda okusamira, tekirimuyamba.
13Ekyo kye kigambo Mukama kye yayogera ku Mowaabu mu biro eby’edda.
14Naye kaakano Mukama Katonda agamba nti, “Mu myaka esatu, ng’omukozi gwe bapangisizza bwe yandigibaze, ekitiibwa kya Mowaabu kijja kuba nga kifuuse ekivume ekinyoomebwa, newaakubadde ng’alina ekibiina ekinene; era walisigalawo abantu batono ate nga banafu ddala.”
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.