Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Koseya 6

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1“Mujje, tudde eri Mukama . Atutaaguddetaagudde, naye alituwonya; atuleeseeko ebiwundu, naye ebiwundu alibinyiga.
2Oluvannyuma olw’ennaku bbiri alituzzaamu obulamu, era ku lunaku olwokusatu alituzza buggya, ne tubeera balamu mu maaso ge.
3Tumanye Mukama ; tunyiikire okumumanya. Ng’enjuba bw’evaayo enkya, bw’atyo bw’alirabika; alijja gye tuli ng’enkuba ey’omu kiseera ky’omuzira, era ng’enkuba eya ddumbi efukirira ettaka.”
4Nkukolere ki, Efulayimu? Nkukolere ki, Yuda? Okwagala kwo kuli ng’olufu olw’enkya, era ng’omusulo ogw’enkya ogukala amangu.
5Kyenvudde nkozesa bannabbi okubasalaasala ebitundutundu, ne mbatta n’ebigambo eby’omu kamwa kange, era ne mbasalira emisango ng’okumyansa okw’eggulu.
6Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka, era n’okumanya Katonda, okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.
7Okufaanana nga Adamu, bamenye endagaano, tebaali beesigwa.
8Gireyaadi kibuga ky’abakozi ba bibi, era engalo zaabwe zijjudde omusaayi.
9Ng’abatemu bwe bateegerera omuntu mu kkubo, n’ebibiina bya bakabona bwe bityo bwe bittira ku luguudo olugenda e Sekemu, ne bazza emisango egy’obuswavu.
10Ndabye eby’ekivve mu nnyumba ya Isirayiri; era eyo Efulayimu gye yeeweereddeyo mu bwamalaaya, ne Isirayiri gy’ayonoonekedde.
11“Naawe Yuda, amakungula gatuuse. “Bwe ndikomyawo emikisa gy’abantu bange,
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.