Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Koseya 5

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Muwulire kino mmwe bakabona! Musseeyo omwoyo, mmwe Isirayiri! Muwulirize, mmwe ennyumba ya Kabaka! Omusango guli ku mmwe: Mubadde kyambika e Mizupa, era ekitimba ekitegeddwa ku Taboli.
2Abajeemu bamaliridde okutta, naye ndibabonereza bonna.
3Mmanyi byonna ebikwata ku Efulayimu, so ne Isirayiri tankisibwa. Efulayimu weewaddeyo okukuba obwamalaaya, ne Isirayiri yeeyonoonye.
4Ebikolwa byabwe tebibaganya kudda eri Katonda waabwe, kubanga omwoyo ogw’obwamalaaya guli mu mitima gyabwe, so tebamanyi Mukama .
5Amalala ga Isirayiri gabalumiriza; Abayisirayiri ne Efulayimu balyesittala olw’omusango gwabwe; ne Yuda alyesittalira wamu nabo.
6Bwe baligenda n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe okunoonya Mukama , tebalimulaba; abaviiridde, abeeyawuddeko.
7Tebabadde beesigwa eri Mukama ; bazadde abaana aboobwenzi. Embaga ez’omwezi ogwakaboneka kyeziriva zibamalawo, n’ennimiro zaabwe ne ziragajjalirwa.
8Mufuuwe eŋŋombe mu Gibea, n’ekkondeere mu Laama. Muyimuse amaloboozi e Besaveni; mutukulembere mmwe Benyamini.
9Efulayimu alifuuka matongo ku lunaku olw’okubonerezebwa. Nnangirira ebiribaawo mu bika bya Isirayiri.
10Abakulembeze ba Yuda bali ng’abo abajjulula ensalo, era ndibafukako obusungu bwange ng’omujjuzo gw’amazzi.
11Efulayimu anyigirizibwa, era omusango gumumezze, kubanga yamalirira okugoberera bakatonda abalala.
12Kyenvudde nfuuka ng’ennyenje eri Efulayimu, n’eri ennyumba ya Yuda n’emba ng’ekintu ekivundu.
13“Efulayimu bwe yalaba obulwadde bwe, ne Yuda n’alaba ekivundu kye, Efulayimu n’addukira mu Bwasuli, n’atumya obuyambi okuva eri kabaka waayo omukulu. Naye tasobola kubawonya newaakubadde okubajjanjaba ebiwundu byabwe.
14Kyendiva mbeera ng’empologoma eri Efulayimu, era ng’empologoma ey’amaanyi eri ennyumba ya Yuda. Ndibataagulataagula ne ŋŋenda; ndibeetikka ne mbatwala, ne babulwako ayinza okubawonya.
15Ndiddayo mu kifo kyange, okutuusa lwe balikkiriza omusango gwabwe. Balinnoonya, mu buyinike bwabwe, balinnoonya n’omutima gwabwe gwonna.”
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.