Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Koseya 14

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Mudde eri Mukama Katonda wammwe, ggwe Isirayiri. Ebibi byammwe bye bibaleetedde okugwa.
2Mudde eri Mukama nga mwogera ebigambo bino nti, “Tusonyiwe ebibi byaffe byonna, otwanirize n’ekisa, bwe tutyo tunaawaayo ebibala by’akamwa kaffe, ng’ebiweebwayo eby’ente ennume.
3Obwasuli tebusobola kutulokola; Tetujja kwebagala mbalaasi ez’omu ntalo. Tetuliddayo kwogera nate nti, ‘Bakatonda baffe,’ nga twogera ku bintu bye twekoledde n’emikono gyaffe, kubanga mu ggwe, bamulekwa mwe bajja okusaasirwa.”
4Ndibalekesaayo empisa zaabwe embi, ne mbaagala awatali kye mbasalidde kya kusasula. Kubanga obusungu bwange butanudde okubavaako.
5Ndifaanana ng’omusulo eri Isirayiri: alimulisa ng’eddanga, era alisimba emirandira ng’emivule gy’e Lebanooni.
6Amatabi ge amato galikula; n’obulungi bwe buliba ng’omuzeyituuni, n’akaloosa ke kaliba ng’akaloosa k’omuvule gw’e Lebanooni.
7Abantu balibeera nate wansi w’ekisiikirize kye, era alibala ng’emmere ey’empeke. Alimulisa ng’omuzabbibu, era alyatiikirira nga wayini ow’e Lebanooni.
8Ggwe Efulayimu mugabo ki gwe nnina mu bakatonda bo? Ndimwanukula ne mulabirira. Nninga omuberosi omugimu, era n’ebibala byo biva mu nze.
9Abalina amagezi bategeera ensonga zino, era abakabakaba balibimanya. Amakuba ga Mukama matuufu, n’abatuukirivu bagatambuliramu, naye abajeemu bageesittaliramu.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.