Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Koseya 13

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Efulayimu buli lwe yayogeranga, abantu baakankananga. Yagulumizibwanga mu Isirayiri. Naye bwe yayonoona olw’okusinza Baali, n’afa.
2Ne kaakano bongera okwonoona; ne beekolera ebifaananyi ebisaanuuse mu ffeeza yaabwe, ng’okutegeera kwabwe bwe kuli, nga byonna mulimu gw’abaweesi. Kigambibwa nti, “Bawaayo ssaddaaka ez’abantu, ne banywegera ebifaananyi eby’ennyana.”
3Kyebaliva babeera ng’olufu olw’oku makya, oba ng’omusulo oguvaawo amangu, ng’ebisusunku embuyaga ze bifumuula okubiggya mu gguuliro, oba ng’omukka ogufulumira mu ddirisa.
4“Nze Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi ya Misiri; so tolimanya Katonda mulala wabula nze, so tewali mulokozi wabula nze.
5Nakulabirira mu ddungu, mu nsi ey’ekyeya ekingi.
6Bwe nabaliisa, bakkuta; bwe bakkuta ne beegulumiza, bwe batyo ne banneerabira.
7Kyendiva mbalumba ng’empologoma, era ndibateegera ku kkubo ng’engo.
8Ng’eddubu erinyagiddwako abaana baalyo, ndibalumba ne mbataagulataagula. Era okufaananako ng’empologoma bw’ekola ndibaliira eyo, ensolo ey’omu nsiko eribataagulataagula.
9Ndibazikiriza mmwe Isirayiri, kubanga munnwanyisa.
10Kabaka wammwe ali wa, abalokole? Abafuzi ab’omu bibuga byo byonna bali ludda wa, be wayogerako nti, ‘Tuwe kabaka n’abafuzi?’
11Nabawa kabaka nga nsunguwadde, ate ne mmubaggyako nga ndiko ekiruyi.
12Omusango gwa Efulayimu guterekeddwa, era n’ekibi kye kimanyiddwa.
13Obubalagaze ng’obw’omukyala alumwa okuzaala bumujjira, naye omwana olw’obutaba n’amagezi, ekiseera bwe kituuka, tavaayo mu lubuto.
14“Ndibanunulayo mu maanyi g’emagombe, era ndibalokola mu kufa. Ggwe kufa, endwadde zo ziri ludda wa? Ggwe Magombe, okuzikiriza kwo kuli ludda wa? “Sirimusaasira,
15ne bw’anaakulaakulana mu baganda be. Empewo ey’ebuvanjuba erijja okuva eri Mukama , ng’eva mu ddungu, n’ensulo ze ne zikalira, n’oluzzi lwe ne lukalira. Eggwanika lye lirinyagibwa, eby’omuwendo byonna ne bitwalibwa.
16Abantu b’e Samaliya balivunaanibwa omusango gwabwe kubanga bajeemedde Katonda waabwe. Balittibwa n’ekitala, n’abaana baabwe abato balibetentebwa, n’abakyala baabwe abali embuto balibaagibwa.”
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.