Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Koseya 11

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1“Isirayiri bwe yali omwana omuto, namwagala, era namuyita okuva mu Misiri.
2Naye buli lwe nayongeranga okuyita Isirayiri, nabo gye beeyongeranga okusemberayo ne bawaayo ssaddaaka eri Babaali, ne bootereza ebifaananyi ebyole obubaane.
3Nze nayigiriza Efulayimu okutambula, nga mbakwata ku mukono; naye tebategeera nga nze nabawonya.
4Nabakulembera n’emiguwa egy’okusaasira okw’obuntu, n’ebisiba eby’okwagala. Naggya ekikoligo mu bulago bwabwe ne neetoowaza ne mbaliisa.
5“Tebaliddayo mu nsi ya Misiri, era Obwasuli tebulibafuga kubanga baagaana okwenenya?
6Ekitala kirimyansiza mu bibuga byabwe ne kizikiriza ebisiba ebya wankaaki waabwe, ne kikomya enteekateeka zaabwe.
7Abantu bange bamaliridde okunvaako. Ne bwe banaakoowoola oyo Ali Waggulu Ennyo, taabagulumize.
8“Nnyinza ntya okukuleka ggwe Efulayimu? Nnyinza ntya okukuwaayo ggwe Isirayiri? Nnyinza ntya okukufuula nga Aduma? Nnyinza ntya okukukola nga Zeboyimu? Omutima gwange gwekyusiza munda yange, Mpulira nkukwatiddwa ekisa kingi.
9Siikole ng’obusungu bwange obungi bwe buli, so siridda kuzikiriza Efulayimu; kubanga siri muntu wabula ndi Katonda, Omutukuvu wakati mu mmwe: sirijja na busungu.
10Baligoberera Mukama ; era aliwuluguma ng’empologoma. Bw’aliwuluguma, abaana be balijja nga bakankana okuva ebugwanjuba.
11Balijja nga bakankana ng’ebinyonyi ebiva e Misiri, era ng’enjiibwa eziva mu Bwasuli. Ndibafuula abatuuze mu maka gaabwe,” bw’ayogera Mukama .
12Efulayimu aneebunguluzza obulimba, n’ennyumba ya Isirayiri eneebunguluzza obukuusa, ne Yuda ajeemedde Katonda, ajeemedde omwesigwa Omutukuvu.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.