Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Koseya 10

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Isirayiri yali muzabbibu ogwagaagadde, ogwabala ebibala byagwo. Ebibala bye gye byeyongera obungi, naye gye yeeyongera okuzimba ebyoto; n’ensi ye gye yeeyongera okuba engagga, gye yeeyongera okulungiya empagi ze.
2Omutima gwabwe mulimba, era ekiseera kituuse omusango gubasinge. Mukama alimenya ebyoto byabwe, era alizikiriza empagi zaabwe.
3Olwo balyogera nti, “Tetulina kabaka kubanga tetwatya Mukama . Naye ne bwe twandibadde ne kabaka, yanditukoleddeyo ki?”
4Basuubiza bingi, ne balayirira obwereere nga bakola endagaano; emisango kyegiva givaayo ng’omuddo ogw’obutwa mu nnimiro ennime.
5Abatuuze b’e Samaliya bali mu ntiisa olw’ennyana ensaanuuse ey’e Besaveni. Abantu baayo baligikungubagira, ne bakabona baayo abaweereza bakatonda abalala, abaasanyukanga olw’ekitiibwa kyayo baligikungubagira, kubanga ekitiibwa kyayo kigivuddeko.
6Erisutulibwa n’etwalibwa e Bwasuli n’eweebwa kabaka omukulu ng’ekirabo. Efulayimu aliswazibwa ne Isirayiri alikwatibwa ensonyi olw’ekiteeso kye.
7Samaliya ne kabaka we balitwalibwa ng’ekibajjo eky’omuti ku mazzi n’azikirizibwa.
8Ebifo ebigulumivu eby’obutali butuukirivu birisaanyizibwawo, kye kibi kya Isirayiri. Amaggwa n’amatovu galimera ku byoto byabwe, ne gabibikka. Olwo ne bagamba ensozi nti, “Mutubuutikire,” n’obusozi nti, “Mutugweko.”
9Okuva mu nnaku za Gibea, wayonoona, ggwe Isirayiri era eyo gye wagugubira. Entalo tezakwatira abakozi b’ebibi mu Gibea?
10Bwe ndiba nga njagadde, ndibabonereza; amawanga galikuŋŋaana okulwana nabo, ne basibibwa mu masanga olw’ebibi byabwe eby’emirundi ebiri.
11Efulayimu nnyana ntendeke eyagala okuwuula; kyendiva nteeka ekikoligo mu nsingo ye ennungi. Ndigoba Efulayimu ne Yuda ateekwa okulima ne Yakobo ateekwa okukabala.
12Musige ensigo ez’obutuukirivu, mukungule ebibala eby’okwagala okutaggwaawo; mukabale ettaka lyammwe eritali ddime, kubanga ekiseera kituuse okunoonya Mukama , okutuusa lw’alidda n’abafukako obutuukirivu.
13Naye mwasimba obutali butuukirivu ne mukungula ebibi, era mulidde ebibala eby’obulimba. Olw’okwesiga amaanyi go, n’abalwanyi bo abangi,
14olutalo kyeluliva lubawuumira mu matu, n’ebigo byammwe byonna ne bizikirizibwa, nga Sulemaani bwe yazikiriza Beswaluberi ku lunaku olw’olutalo, abakyala ba nnakazadde lwe baggundwa ku ttaka n’abaana baabwe.
15Bwe kityo bwe kiribeera, ggwe Besweri kubanga ekibi kyo kinene nnyo. Olunaku olwo bwe lulituuka, kabaka wa Isirayiri alizikiririzibwa ddala.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.