Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zekkaliya 2

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Awo ne nnyimusa amaaso gange, ne ndaba, omusajja ng’alina mu mukono gwe olukoba olupima.
2Ne mubuuza nti, “Ogenda wa?” Nanziramu nti, “Ŋŋenda kupima Yerusaalemi okulaba obuwanvu n’obugazi bwakyo.”
3Awo malayika eyali ayogera nange n’agenda, malayika omulala n’amusisinkana.
4N’amugamba nti, “Dduka ogambe omuvubuka oyo nti, ‘Yerusaalemi kijja kuba ekibuga ekitaliiko bbugwe olw’obungi bw’abantu n’ebisibo ebinaabeeramu.
5Nze ndiba bbugwe ow’omuliro, okukyebungulula enjuuyi zonna era nze ndiba ekitiibwa kyakyo mu kyo,’ bw’ayogera Mukama .
6“Kale mudduke, mudduke ensi ey’obukiikakkono mugiveemu,” bw’ayogera Mukama , “kubanga mbasaasanyizza ng’empewo ennya ez’eggulu bwe ziri,” bw’ayogera Mukama .
7“Mmwe Sayuuni mudduke, mudukke muwone mmwe ababeera mu buwaŋŋanguse mu Babulooni.”
8Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “ Mukama nga bw’ampadde ekitiibwa n’antuma eri amawanga agaabanyaganga, anaabakwatako anaaba akutte ku mmunye ya liiso lye.
9Kubanga laba ndyolesa omukono gwange gye bali, abaddu baabwe ne babanyaga. Olwo lwe mulimanya nga Mukama ow’Eggye ye yantuma.
10“Yimba, osanyuke ggwe muwala wa Sayuuni, kubanga laba nzija era ndibeera wakati mu mmwe,” bw’ayogera Mukama .
11“Era amawanga mangi galyegatta ku Mukama ku lunaku olwo, era balibeera bantu bange, era nange nnaabeeranga wakati mu ggwe, naawe onootegeera nga Mukama ow’Eggye ye yantuma gy’oli.
12Era Yuda aliba mugabo gwa Mukama mu nsi entukuvu, era aliddamu okwerondera Yerusaalemi.
13Musiriikirire, abantu mwenna mu maaso ga Mukama , kubanga asituse okuva mu kifo kye ekitukuvu.”
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.