Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 17

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Awo omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu n’ajja n’ayogera nange, n’aŋŋamba nti, “Jjangu nkulage ebigenda okutuuka ku mukazi malaaya omukulu atudde ku mazzi amangi.
2Bakabaka ab’oku nsi bayenda naye n’abantu ab’oku nsi banywa omwenge ogw’obwenzi bwe ne batamiira.”
3Bw’atyo malayika n’antwala mu mwoyo, mu ddungu, ne ndaba omukazi ng’atudde ku kisolo ekimyufu ekyalina emitwe omusanvu n’amayembe ekkumi, okwali kuwandiikiddwa amannya agavvoola Katonda.
4Omukazi yali ayambadde engoye bbiri olugoye olumyufu n’olwa kakobe era ng’alina n’ebintu ebirala eby’omuwendo, nga zaabu n’amayinja ag’omuwendo, era ng’akutte mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu nga kijjudde eby’omuzizo byonna eby’obwenzi bwe.
5Ebiwandiiko eby’ekyama byali biwandiikiddwa ku kyenyi kye nga bigamba nti: Babulooni Ekibuga Ekikulu Nnyina wa Bamalaaya bonna, era Nnyina w’Eby’emizizo mu nsi.
6Ne ndaba omukazi ng’atamidde omusaayi gw’abatukuvu, awamu n’ogw’abajulirwa abattibwa olwa Yesu. Bwe namulaba ne neewuunya.
7Malayika n’ambuuza nti, “Lwaki weewuunya? Nzija kukunnyonnyola ebyama eby’omukazi oyo era n’ekisolo kw’atudde ekirina emitwe omusanvu n’amayembe ekkumi.
8Ekisolo kye walabye kyaliwo, naye kaakano tekikyaliwo era mu bbanga ttono kiriggyibwa mu bunnya obutakoma kiryoke kizikirizibwe. Abantu abali ku nsi amannya gaabwe nga tegawandiikiddwa mu kitabo eky’Obulamu okuva ensi lwe yatondebwa, balyewuunya okulaba ekisolo ekyaliwo, ne kitabeerawo, ate ne kiddamu okubeerawo.
9“Kale kyetaaga amagezi n’okutegeera. Emitwe omusanvu ze nsozi omusanvu omukazi kw’atudde, era be bakabaka omusanvu.
10Abataano baagwa, omu y’aliwo kaakano, naye omulala tannajja wabula bw’anajja kimugwanira okubeerawo ekiseera kitono.
11Ekisolo ekyaliwo, kaakano nga tekikyaliwo, ky’eky’omunaana, kyokka kiri nga biri omusanvu; era nakyo kirizikirizibwa.
12“Amayembe ekkumi ge walaba be bakabaka ekkumi abatannaweebwa buyinza kufuga; balirondebwa okufugira wamu n’ekisolo okumala essaawa emu.
13Bonna bassa kimu era baliwa ekisolo ekikambwe, amaanyi n’obuyinza bwabwe.
14Bano balyegatta wamu okulwanyisa Omwana gw’Endiga, kyokka Omwana gw’Endiga alibawangula kubanga ye Mukama wa bakama era Kabaka wa bakabaka, abali awamu naye be yayita era abalonde be abeesigwa.”
15Awo malayika n’aŋŋamba nti, “Amazzi ge walaba omukazi omwenzi kw’atudde, be bantu n’ebibinja by’abantu aba buli kika n’aba buli lulimi.
16Ekisolo n’amayembe ekkumi bye walaba birikyawa omukazi oyo ne bimulumba ne bimulwanyisa, era birimuleka bwereere nga talina ky’ayambadde ne birya omubiri gwe, ne bimwokya n’omuliro.
17Kubanga Katonda ye yakibiwa bituukirize ebyo bye yasiima okukola, n’okukola n’omwoyo gumu n’okuwa obwakabaka bwabwe ekisolo ekyo okutuusa ekigambo kya Katonda lwe kirituukirira.
18Ate omukazi gwe walabye, ky’ekibuga ekikulu ekifuga bakabaka bonna ab’oku nsi.”
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.