Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 15

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Awo ne ndaba akabonero akalala mu ggulu ak’amaanyi era nga ka kitalo bamalayika omusanvu nga balina ebibonoobono musanvu, olwo ekiruyi kya Katonda kiryoke kituukirire.
2Awo ne ndaba ekifaanana ng’ennyanja etangalijja ng’eri ng’endabirwamu erimu omuliro, era ku nnyanja eyo kwali kuyimiriddeko abo abaali bawangudde ekisolo n’ekifaananyi kyakyo awamu n’akabonero ak’omuwendo gwakyo, nga bakutte ennanga Katonda ze yabawa.
3Baali bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n’oluyimba lw’Omwana gw’Endiga nga lugamba nti, “Ebikolwa byo bikulu era bya kyewuunyo, ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna. Amakubo go matukuvu era ga mazima, ayi ggwe Kabaka w’amawanga.
4Ani ataakutye Ayi Mukama, n’atagulumiza linnya lyo? Ggwe wekka gwe Mutukuvu, amawanga gonna galijja ne gasinziza mu maaso go, Kubanga ebikolwa byo eby’obutuukirivu birabise.”
5Oluvannyuma lw’ebyo, ne ndaba Yeekaalu ng’eggaddwawo, lye kkuŋŋaaniro ly’obujulirwa mu ggulu.
6Awo bamalayika omusanvu abaalina ebibonoobono omusanvu ne bafuluma mu Yeekaalu nga bambadde engoye eza linena ennyonjo nga zimasamasa era nga beesibye mu bifuba byabwe enkoba eza zaabu.
7Ekimu ku biramu ebina ne kiwa bamalayika omusanvu ebibya musanvu ebya zaabu nga bijjudde ekiruyi kya Katonda omulamu era abeera omulamu emirembe n’emirembe.
8Awo Yeekaalu n’ejjula omukka ogwava mu kitiibwa kya Katonda n’emu maanyi ge, so tewaali muntu n’omu eyayinza okuyingira mu Yeekaalu okutuusa ebibonoobono omusanvu ebya bamalayika omusanvu lwe byatuukirira.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.