Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 97

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Mukama afuga; ensi esanyuke, n’embalama eziri ewala zijaguze.
2Ebire n’ekizikiza bimwetooloola; obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’entebe y’obwakabaka bwe.
3Omuliro gumukulembera ne gwokya abalabe be ku njuyi zonna.
4Okumyansa kwe kumulisa ensi; ensi n’ekulaba n’ekankana.
5Ensozi zisaanuuka ng’envumbo awali Mukama , mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna.
6Eggulu lirangirira obutuukirivu bwe; n’abantu bonna ne balaba ekitiibwa kye.
7Abasinza ebifaananyi ebikole n’emikono bonna baswadde, abo abeenyumiririza mu bifaananyi ebyole. Mumusinze mwe mwenna bakatonda.
8Sayuuni akiwulira n’asanyuka, n’ebyalo bya Yuda bijaguza; kubanga ogoberera eby’ensonga, Ayi Katonda.
9Kubanga ggwe, Ayi Mukama , oli waggulu nnyo okusinga ensi; ogulumizibwa okusinga bakatonda bonna.
10Abo abaagala Mukama bakyawa ekibi, akuuma obulamu bw’abamwesiga, n’abawonya okuva mu mukono gw’omukozi w’ebibi.
11Omusana gwe gwakira abatuukirivu, n’abalina omutima ogw’amazima bajjula essanyu.
12Musanyukirenga mu Mukama mmwe abatuukirivu, era mwebazenga erinnya lye ettukuvu.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.