Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 95

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Mujje tuyimbire Mukama ; tuyimbire waggulu n’essanyu nga tutendereza Mukama Olwazi olw’obulokozi bwaffe.
2Tujje mu maaso ge n’okwebaza; tumuyimbire ennyimba ez’okumutendereza.
3Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu; era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.
4Enkonko ez’ensi ziri mu mukono gwe; n’entikko z’ensozi nazo zize.
5Ennyanja yiye, kubanga ye yagikola; n’emikono gye, gye gyabumba olukalu.
6Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge; tufukamire mu maaso ga Mukama , Omutonzi waffe.
7Kubanga ye Katonda waffe, naffe tuli bantu ab’omu ddundiro lye, era tuli ndiga ze z’alabirira. Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,
8“Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba , ne ku lunaku luli e Maasa mu ddungu;
9bajjajjammwe gye bangezesa; newaakubadde baali baalaba dda ebyamagero bye nakola.
10Abantu b’omulembe ogwo ne mbasunguwalira okumala emyaka amakumi ana; ne ŋŋamba nti, ‘Be bantu abakyama mu mutima gwabwe, era tebamanyi makubo gange.’
11Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti, ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.