1Kirungi okwebazanga Mukama , n’okuyimba ennyimba n’okutenderezanga erinnya lyo, Ayi Ggwe, Ali Waggulu Ennyo;
2okutendanga okwagala kwo okutakoma buli nkya, n’okutendanga obwesigwa bwo buli kiro.
3Okukutenderezanga n’amaloboozi g’enkoba z’ennanga n’endere awamu n’entongooli.
4Kubanga ggwe, Ayi Mukama , onkoledde ebinsanyusizza; kyenva nkuyimbira n’essanyu olw’emirimu gy’emikono gyo.
5Emirimu gyo nga mikulu, Ayi Mukama ; ebirowoozo byo nga tebitegeerekeka!
6Omuntu atalina magezi tamanyi; n’omusirusiru kino tasobola kukitegeera;
7newaakubadde ng’abakola ebibi baloka ng’omuddo, n’aboonoonyi bonna ne bafuna ebirungi, boolekedde okuzikirira okw’emirembe n’emirembe!
8Naye ggwe, Ayi Mukama , ogulumizibwa emirembe gyonna.
9Kubanga abalabe bo, Ayi Mukama , abalabe bo balizikirira, abakola ebibi bonna balisaasaanyizibwa.
10Naye nze wanfuula wa maanyi okwenkana embogo, n’onfukako amafuta amalungi.
11Amaaso gaalaba bbugwe ng’agwa ku balabe bange; n’amatu gange gawulidde akabi akatuuse ku abo abanjigganya.
12Abatuukirivu balyegolola ng’enkindu, ne bakula ne bawanvuwa ng’emivule gy’e Lebanooni.
13Egisimbibwa mu nnyumba ya Mukama . Baligimukira mu mpya za Katonda waffe.
14Ne mu bukadde bwabwe balibala ebibala; baliba balamu era abagimu,
15kiryoke kitegeeze nti, Mukama w’amazima, lwe Lwazi lwange era mu ye temuli butali butuukirivu.