Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 90

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Ayi Mukama, obadde kifo kyaffe eky’okubeeramu emirembe gyonna.
2Ensozi nga tezinnabaawo, n’ensi yonna nga tonnagitonda; okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero y’emirembe gyonna, ggwe Katonda.
3Omuntu omuzzaayo mu nfuufu, n’oyogera nti, “Mudde mu nfuufu, mmwe abaana b’abantu.”
4Kubanga emyaka olukumi, gy’oli giri ng’olunaku olumu olwayita, oba ng’ekisisimuka mu kiro.
5Obeera n’obamalirawo ddala nga bali mu tulo otw’okufa. Ku makya baba ng’omuddo omuto.
6Ku makya guba munyirivu, naye olw’eggulo ne guwotoka ne gukala.
7Ddala ddala obusungu bwo butumalawo, n’obukambwe bwo bututiisa nnyo.
8Ebyonoono byaffe obyanjadde mu maaso go, n’ebyo bye tukoze mu kyama obyanise awo w’oli.
9Ddala ddala tumala ennaku z’obulamu bwaffe zonna ng’otunyiigidde; tukomekkereza emyaka gyaffe n’okusinda.
10Obungi bw’ennaku zaffe gy’emyaka nsanvu, oba kinaana bwe tubaamu amaanyi. Naye emyaka egyo gijjula ennaku n’okutegana, era giyita mangu, olwo nga tuggwaawo.
11Ani amanyi amaanyi g’obusungu bwo? Kubanga ekiruyi kyo kingi ng’ekitiibwa kye tusaana okukuwa bwe kyenkana.
12Otuyigirize okutegeeranga obulungi ennaku zaffe, tulyoke tubeere n’omutima ogw’amagezi.
13Ayi Mukama, komawo gye tuli. Olitusuula kutuusa ddi? Abaweereza bo bakwatirwe ekisa.
14Tujjuze okwagala kwo okutaggwaawo ku makya, tulyoke tuyimbenga nga tujaguza n’essanyu era tusanyukenga obulamu bwaffe bwonna.
15Tusanyuse, Ayi Mukama , okumala ennaku nga ze tumaze ng’otubonyaabonya, era n’okumala emyaka nga gye tumaze nga tulaba ennaku.
16Ebikolwa byo biragibwe abaweereza bo, n’abaana baabwe balabe ekitiibwa kyo.
17Okusaasira kwo, Ayi Mukama Katonda waffe, kubeerenga ku ffe, otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe; weewaawo, otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.