Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 77

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Nnaakaabirira Katonda ambeere, ddala nnaakaabirira Katonda nga musaba ampulire.
2Bwe nnali mu nnaku, nanoonya Mukama, ekiro kyonna ne ngolola emikono gyange obutakoowa; emmeeme yange neegaana okusanyusibwa.
3Nakujjukiranga, Ayi Katonda ne nsinda, ne nfumiitiriza emmeeme yange n’ezirika.
4Tewaŋŋanya kwebaka; natawaanyizibwa nnyo ne sisobola kwogera.
5Ne ndowooza ku biseera eby’edda, ne nzijukira emyaka egyayita.
6Najjukiranga ennyimba zange ekiro, ne nfumiitiriza nga bwe neebuuza mu mutima gwange nti:
7“Mukama anaatusuuliranga ddala ennaku zonna naataddayo kutulaga kisa kye?
8Okwagala kwe okutaggwaawo kukomedde ddala? Kye yasuubiza kibulidde ddala emirembe n’emirembe?
9Katonda yeerabidde ekisa kye? Asunguwalidde ddala ne yeggyako n’okusaasira kwe?”
10Awo ne ndowooza nti, “Ebyo bye mmanyi eby’emyaka emingi eby’omukono ogwa ddyo ogw’oyo Ali Waggulu Ennyo.”
11Nnajjukiranga ebikolwa bya Mukama , weewaawo, nnajjukiranga ebyamagero byo eby’edda.
12Nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo byonna eby’amaanyi; nnaalowoozanga ku byamagero byo byonna.
13Ekkubo lyo, Ayi Katonda, liri mu watukuvu. Tewali katonda yenkana Katonda waffe.
14Ggwe Katonda akola eby’amagero; era amaanyi go ogalaga mu mawanga.
15Wanunula abantu bo n’omukono gwo, abazzukulu ba Yakobo ne Yusufu.
16Amazzi gaakulaba, Ayi Katonda; amazzi bwe gaakulaba ne gatya, n’obuziba ne bukankanira ddala.
17Ebire byayiwa amazzi ne bivaamu n’okubwatuka, era n’obusaale bwo ne bubuna.
18Eddoboozi lyo ery’okubwatuka lyawulirwa mu kikuŋŋunta okumyansa kwo ne kumulisa ensi. Ensi n’ekankana n’enyeenyezebwa.
19Ekkubo lyo lyali mu nnyanja; wayita mu mazzi amangi, naye ebigere mwe walinnya tebyalabika.
20Wakulembera abantu bo ng’ekisibo, nga bali mu mikono gya Musa ne Alooni.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.