Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 67

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa, era otwakize amaaso go.
2Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi, n’obulokozi bwo mu mawanga gonna.
3Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda, abantu bonna bakutenderezenga.
4Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu. Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya, n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi.
5Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda, abantu bonna bakutenderezenga.
6Ensi erireeta amakungula gaayo; era Katonda, Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.
7Katonda anaatuwanga omukisa; n’enkomerero z’ensi zinaamutyanga.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.