Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 60

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Otusudde, Ayi Katonda, otumazeemu amaanyi, otunyiigidde. Tukwegayiridde otuzze gy’oli.
2Ensi ogiyuuguumizza n’ogyasaayasa; tukwegayirira enjatika ozizibe, kubanga ekankana.
3Obadde mukambwe nnyo eri abantu bo; tuli nga b’owadde omwenge omungi ne gututagaza.
4Naye abo abakutya obawanikidde ebbendera okuba akabonero akabakuŋŋaanya awamu, era akatiisa abalabe baabwe.
5Otulokole era otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo, abakwagala baleme kutuukibwako kabi konna.
6Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu, n’agamba nti, “Mu buwanguzi, ndisala mu Sekemu, era n’ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.
7Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange. Efulayimu ye nkufiira ey’oku mutwe gwange; ate Yuda gwe muggo gwange ogw’okufuga.
8Mowaabu kye kinaabirwamu kyange, ate Edomu gye nkasuka engatto yange: ne ku Bafirisuuti ndeekaana mu buwanguzi.”
9Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu? Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?
10Si ggwe Ayi Katonda, atusudde, atakyatabaala na magye gaffe?
11Tudduukirire, nga tulwanyisa abalabe baffe, kubanga obuyambi bw’abantu temuli nsa.
12Bwe tunaabeeranga ne Katonda, tunaabanga bawanguzi, kubanga ye y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.