Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 6

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Ayi Mukama , tonnenya ng’ojjudde obusungu; so tombonereza mu kiruyi kyo.
2Onsaasire, Ayi Mukama , kubanga ndi munafu. Omponye, Ayi Mukama , kubanga amagumba gange gali mu bulumi.
3Emmeeme yange ejjudde ennaku. Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe?
4Onkyukire, Ayi Mukama , olokole omwoyo gwange; omponye okufa olw’okwagala kwo okungi.
5Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa. Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe?
6Mpweddemu amaanyi olw’okusinda. Buli kiro obuliri bwange bujjula amaziga gange n’omutto ne gutoba.
7Amaaso gange ganafuye olw’okunyolwa, tegakyalaba bulungi olw’abalabe bange.
8Muve we ndi mmwe mwenna abakola ebibi; kubanga Mukama awulidde okukaaba kwange.
9Mukama awulidde okwegayirira kwange, n’okusaba kwange akukkirizza.
10Abalabe bange bonna baliswazibwa era balitya nnyo; bazzibwe emabega nga bajjudde obuswavu mangu ago.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.