1Olw’erinnya lyo ondokole, Ayi Katonda, n’amaanyi go amangi onzigyeko omusango.
2Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda, owulirize ebigambo by’omu kamwa kange.
3Abantu be simanyi bannumba; abantu abalina ettima abatatya Katonda; bannoonya okunzita.
4Laba, Katonda ye mubeezi wange, Mukama ye mukuumi wange.
5Leka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize, obazikirize olw’obwesigwa bwo.
6Nnaakuleeteranga ssaddaaka ey’ekyeyagalire; ne ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama , kubanga ddungi.
7Kubanga Katonda amponyezza ebizibu byange byonna; era amaaso gange galabye ng’awangula abalabe bange.