Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 48

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyo mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.
2Sayuuni lwe lusozi lwe olulungi olugulumivu, olusanyusa ensi yonna. Ku ntikko Zafoni kwe kuli ekibuga kya Kabaka Omukulu;
3Katonda mw’abeera; yeeraze okuba ekigo kye.
4Kale laba, bakabaka b’ensi baakuŋŋaana ne bakyolekera bakirumbe;
5bwe baakituukako ne bakyewuunya, ne batya nnyo ne badduka;
6nga bakankana, ne bajjula obulumi ng’omukazi alumwa okuzaala.
7Wabazikiriza ng’omuyaga ogw’ebuvanjuba bwe guzikiriza ebyombo by’e Talusiisi.
8Ebyo bye twawuliranga obuwulizi, kaakano tubirabye mu kibuga kya Mukama ow’Eggye, mu kibuga kya Katonda waffe, kyalinywereza ddala emirembe gyonna.
9Ayi Katonda, tufumiitiriza ku kwagala kwo okutaggwaawo nga tuli mu Yeekaalu yo.
10Erinnya lyo nga bwe liri ekkulu, Ayi Katonda, bw’otyo bw’otenderezebwa mu nsi yonna. Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obuwanguzi.
11Sanyuka gwe Sayuuni, musanyuke mmwe ebibuga bya Yuda; kubanga Katonda alamula bya nsonga.
12Mutambule mu Sayuuni, mukibune; mubale n’ebigo byakyo.
13Mwekalirize nnyo munda wa bbugwe waakyo n’olusiisira lw’amaggye lwamu lwonna; mulyoke mutegeeze ab’emirembe egiriddawo.
14Kubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna; y’anaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.