Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 36

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Nnina obubaka mu mutima gwange obukwata ku bwonoonyi bw’omukozi w’ebibi. N’okutya tatya Katonda.
2Ye nga bw’alaba yeewaanawaana n’atasobola kutegeera oba okukyawa ekibi kye.
3Ebigambo ebiva mu kamwa ke biba bibi era nga bya bulimba; takyalina magezi era takyakola birungi.
4Ne ku kitanda kye afumiitiriza ebibi by’anaakola; amalirira okutambuliranga mu kkubo ekyamu, era ebitali bituufu tabyewala.
5Okwagala kwo, Ayi Mukama , kutuuka ne ku ggulu; obwesigwa bwo butuuka ku bire.
6Obutuukirivu bwo bugulumivu ng’agasozi aganene, n’obwenkanya bwo buwanvu nnyo ng’ennyanja ennene ennyo. Ayi Mukama , olabirira abantu n’ebisolo.
7Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika. Ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa baddukira mu biwaawaatiro byo.
8Balya ku bingi eby’omu nnyumba yo ne bakkuta; obawa ebyokunywa by’omugga gwo ogwesiimisa.
9Kubanga gw’olina ensulo ey’obulamu, era gw’otwakiza omusana.
10Yongeranga okwagala abo abakutegeera, era n’obutuukirivu bwo eri abo abalina emitima emirongoofu.
11Ab’amalala baleme okunninnyirira, wadde ababi okunsindiikiriza.
12Laba, ababi nga bwe bagudde! Basuuliddwa wansi era tebasobola na ku golokokawo.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.