Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 17

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Wulira, Ayi Mukama , okukoowoola kwange nga nneegayirira, wuliriza okukaaba kwange. Tega okutu owulirize okukoowoola kwange, kubanga tekuva ku mimwa gya bulimba.
2Nzigyako omusango; kubanga olaba ekituufu.
3Weekenneenyezza omutima gwange era n’onkebera n’ekiro. Ne bw’onongezesa toobeeko kibi ky’onsangamu; kubanga mmaliridde obutayogeranga bya bulimba.
4Ggwe, gwe nkoowoola, ngoberedde ebigambo by’akamwa ko, ne neewala ebikolwa by’abantu abakambwe.
5Nnyweredde mu makubo go, era ebigere byange tebiigalekenga.
6Nkukoowoola, Ayi Katonda, kubanga mmanyi ng’onnyanukula; ontegere okutu kwo owulire okusaba kwange.
7Ndaga okwagala kwo okutaggwaawo, okwewuunyisa, ggwe alokola n’omukono gwo ogwa ddyo abo bonna abakweyuna nga badduka abalabe baabwe.
8Onkuume ng’emmunye ey’eriiso lyo; onkweke mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
9Omponye ababi abannumba, n’abalabe bange abanneetoolodde.
10Omutima gwabwe mukakanyavu, n’akamwa kaabwe koogera by’amalala.
11Banzingizza era banneetoolodde; bansimbye amaaso nga beeteeseteese okunsuula wansi.
12Bali ng’empologoma enjala gy’eruma eyeeteeseteese okutaagula omuyiggo gwayo era ng’empologoma enkulu eteeze.
13Golokoka n’ekitala kyo, Ayi Mukama , oyolekere abalabe bange obawangule, omponye ababi abo.
14Ayi Mukama , mponya abantu, abantu ab’ensi n’omukono gwo, kubanga balowooleza mu bya bulamu buno byokka, n’emigabo gyabwe giri mu nsi. Embuto zaabwe zigezze, obagaggawazizza ne baterekera n’abaana baabwe ne bazzukulu baabwe.
15Nze ndikulaba n’amaaso mu butuukirivu era ndimatira, bwe ndiraba obwenyi bwo nga nzuukuse.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.