Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 132

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Ayi Mukama jjukira Dawudi n’okubonaabona kwe yagumiikiriza kwonna.
2Nga bwe yalayirira Mukama , ne yeeyama eri Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo,
3ng’agamba nti, “Siriyingira mu nnyumba yange, wadde okulinnya ku kitanda kyange.
4Sirikkiriza tulo kunkwata newaakubadde okuzibiriza amaaso gange,
5okutuusa lwe ndimala okufunira Mukama ekifo; ekifo eky’okubeeramu ekya Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo.”
6Laba, twakiwulirako mu Efulasa, ne tukizuula mu nnimiro ya Jaali.
7Kale tugende mu kifo kye mw’abeera, tumusinzirize awali entebe y’ebigere bye.
8Golokoka, Ayi Mukama , ogende mu kifo kyo mw’owummulira; ggwe n’Essanduuko yo ey’Endagaano, eraga obuyinza bwo.
9Bakabona bo bambazibwe obutuukirivu, n’abatukuvu bo bayimbe n’essanyu.
10Ku lulwe Dawudi omuddu wo, tomugaana oyo gwe wafukako amafuta.
11Mukama Katonda yalayirira Dawudi ekirayiro ekitaliggwaawo, era talikivaako. Kubanga yamugamba nti, “Omu ku batabani bo gwe ndituuza ku ntebe yo ey’obwakabaka.
12Batabani bo bwe banaakuumanga Endagaano yange n’ebiragiro byange bye nnaabayigirizanga, ne batabani baabwe nabo banaatuulanga ku ntebe yo ey’obwakabaka emirembe gyonna.”
13Kubanga Mukama yalonda Sayuuni, nga kye yasiima okutuulangamu, n’agamba nti:
14“Kino kye kifo mwe nnaawummuliranga emirembe gyonna; omwo mwe nnaatuulanga nga ndi ku ntebe ey’obwakabaka kubanga nkisiimye.
15Nnaakiwanga omukisa ne nkiwa n’ebirungi, era n’abaavu baamu nnaabakkusanga ebyokulya.
16Bakabona baakyo, obulokozi bunaabanga kyambalo kyabwe; n’abatukuvu baakyo banaayimbanga ennyimba ez’essanyu n’essanyu.
17“Eyo gye ndyaliza batabani ba Dawudi obuyinza; ne muteekerawo ettabaaza olw’oyo gwe nayiwako amafuta.
18Abalabe be ndibajjuza ensonyi, naye ye ndimwambaza engule ey’ekitiibwa ekingi.”
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.