1Mukama bwe yakomyawo abawaŋŋanguse ba Sayuuni, twafaanana ng’abaloota.
2Olwo akamwa kaffe ne kajjula enseko, ne nnimi zaffe ne ziyimba ennyimba ez’essanyu. Amawanga ne gagamba nti, “ Mukama abakoledde ebikulu.”
3Mukama atukoledde ebikulu, kyetuvudde tusanyuka.
4Otuzze obuggya, Ayi Mukama , tufaanane ng’emigga egikulukutira mu lusenyi.
5Abo abasiga nga bakaaba amaziga, baliyimba ennyimba ez’essanyu nga bakungula.
6Oyo agenda ng’akaaba ng’atwala ensigo okusiga; alikomawo ng’ayimba ennyimba ez’essanyu ng’aleeta ebinywa bye.