Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 120

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Nkoowoola Mukama nga ndi mu nnaku, era n’annyanukula.
2Omponye, Ayi Mukama , emimwa egy’obulimba, n’olulimi olw’obukuusa.
3Onooweebwa ki, era onookolebwa otya, ggwe olulimi olukuusa?
4Onoofumitibwa n’obusaale obwogi obw’omulwanyi omuzira, n’oyokerwa ku manda ag’omuti entaseesa.
5Ndabye ennaku, kubanga mbeera mu Meseki; nsula mu weema za Kedali!
6Ndudde nnyo mu bantu abakyawa eddembe.
7Nze njagala mirembe, naye bwe njogera bo baagala ntalo.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.