Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 111

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Mutendereze Mukama ! Nneebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna, mu lukiiko lw’abalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana.
2Mukama by’akola bikulu; bifumiitirizibwako abo bonna ababisanyukira.
3Emirimu gye mikulu nnyo era gya kitiibwa, n’obutuukirivu bwe tebuggwaawo emirembe gyonna.
4Ayamba abantu okujjukira ebyamagero bye, Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.
5Agabira abamutya emmere; era ajjukira endagaano ye buli kiseera.
6Abantu be abalaze ng’ebikolwa bye bwe biri eby’amaanyi; n’abagabira ensi eyali ey’abannaggwanga.
7By’akola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya; n’amateeka ge gonna ga bwesigwa,
8manywevu emirembe gyonna; era yagassaawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima.
9Yanunula abantu be; n’alagira endagaano ye ebeerewo emirembe gyonna. Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa!
10Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu. Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.