Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 108

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda; nnaayimbanga ne nkutendereza n’omwoyo gwange gwonna.
2Muzuukuke, mmwe entongooli n’ennanga ey’enkoba, nzija kuyimba okukeesa obudde.
3Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama , mu bantu bonna, nnaakuyimbiranga mu mawanga gonna.
4Okwagala kwo kunene, kutumbiira okutuuka ku ggulu; n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.
5Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okuyisa eggulu; n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.
6Tulokole otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo, abo booyagala banunulibwe.
7Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu n’agamba nti, “Nga nzijudde essanyu, ndisala mu Sekemu, era n’Ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.
8Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange. Efulayimu mwe muli abalwanyi bange abazira; ate mu Yuda mwe munaavanga bakabaka.
9Mowaabu be baweereza bange abawulize; ate Edomu be baddu bange; Abafirisuuti ndibaleekaanira mu ddoboozi ery’omwanguka ery’obuwanguzi.”
10Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu? Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?
11Si ggwe, ayi Katonda, atusudde, atakyatabaala n’amaggye gaffe?
12Tudduukirire nga tulwanyisa abalabe baffe, kubanga obuyambi bw’abantu temuli nsa.
13Bwe tunaabeeranga ne Katonda tunaabanga bawanguzi; kubanga y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.