Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 101

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Nnaayimbanga ku kwagala kwo n’obutuukirivu bwo; nnaayimbiranga ggwe, Ayi Mukama .
2Nneegenderezanga, mu bulamu bwange ne nkola eby’obutuukirivu, naye olijja ddi gye ndi? Nnaabeeranga mu nnyumba yange nga siriiko kya kunenyezebwa.
3Sijjanga kwereetereza kintu kyonna ekibi. Nkyayira ddala ebikolwa by’abo abava mu kkubo lyo; sijjanga kubyeteekako.
4Sijjanga kuba mukuusa; ekibi nnaakyewaliranga ddala.
5Oyo alyolyoma muliraanwa we mu kyama, nnaamuzikiririzanga ddala; amaaso ag’amalala n’omutima ogw’amalala sijja kubigumiikirizanga.
6Abeesigwa abali mu nsi yaffe nnaabasanyukiranga, balyoke babeerenga nange; akola eby’obutuukirivu y’anamperezanga.
7Atayogera mazima taabeerenga mu nnyumba yange. Omuntu alimba sirimuganya kwongera kubeera nange.
8Buli nkya nnaazikirizanga abakola ebibi bonna mu nsi, bwe ntyo abakozi b’ebibi ne mbamalirawo ddala mu kibuga kya Mukama .
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.