Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Engero 9

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Amagezi gazimbye ennyumba yaago, gagizimbidde ku mpagi musanvu.
2Gategese ennyama yaago ne wayini waago; gategese ekijjulo.
3Gatumye abawala abaweereza bakoowoolere mu bifo ebigulumivu nti,
4“Buli atalina kutegeera akyameko wano!” Eri abo abatalina magezi gabagamba nti,
5“Mujje mulye ku mmere yange era munywe ne ku nvinnyo gwe ntabudde.
6Mulekeraawo obutaba na kutegeera mubeere balamu, era mutambulire mu kkubo ly’okumanya.”
7Oyo anenya omunyoomi ayolekera kuvumwa, n’oyo abuulirira omukozi w’ebibi yeeretera kuvumibwa.
8Tonenyanga munyoomi, aleme okukukyawa, naye nenya ow’amagezi naye anaakwagalanga.
9Yigirizanga ow’amagezi naye aneeyongeranga okuba n’amagezi, yigirizanga omutuukirivu, aneeyongerangako okuyiga.
10“Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.
11Ku lwange oliwangaala emyaka mingi nnyo, era olyongerwako emyaka.
12Bw’obeera omugezi, amagezi go gakuyamba, naye bw’onyooma amagezi weerumya wekka.”
13Omukazi omusirusiru aleekaana, taba na mpisa era taba na magezi!
14Era atuula mu mulyango gw’ennyumba ye, ne ku ntebe mu bifo eby’ekibuga ebisinga obugulumivu,
15ng’akoowoola abo abayitawo, ababa batambula amakubo gaabwe abali ku byabwe.
16Abagamba nti, “Buli alina okumanya okutono ajje muno.” Era eri oyo atalina kutegeera agamba nti,
17“Amazzi amabbe nga gawooma! emmere eriibwa mu kyama ng’ewooma!”
18Naye oyo agwa mu kitimba kye tamanya nti nnyumba yakuzikirira, era nti abagenyi be bali mu buziba obw’emagombe.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.