Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Engero 5

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Mutabani, ossangayo omwoyo eri ebiragiro byange, era owulirizanga bulungi ebigambo byange eby’amagezi,
2olyoke oyige okusalawo okw’amagezi, era akamwa ko kavengamu eby’obutegevu.
3Kubanga emimwa gy’omukazi omwenzi gitonnya omubisi gw’enjuki, n’ebigambo bye biweweevu okusinga omuzigo;
4naye enkomerero ya byonna, akaawa ng’omususa era asala ng’ekitala eky’obwogi obubiri.
5Ebigere bye bituuka mu kufa, ebisinde bye biraga emagombe.
6Tafaayo ku kkubo lya bulamu, amakubo ge gaakyamakyama dda, naye nga takimanyi.
7Kaakano, batabani bange mumpulirize, temuvanga ku bigambo bya kamwa kange.
8Mwewalenga omukazi oyo era temusembereranga luggi lwa nnyumba ye;
9si kulwa nga mufiirwa ekitiibwa kyammwe, n’okumalira ebiseera byammwe ku oyo alina ettima,
10ate si kulwa nga b’otolina ky’obamanyiiko bakwavuwaza, n’amaanyi go n’ogamalira ku maka g’omulala.
11Ku nkomerero y’obulamu bwo olisinda, ennyama yo n’omubiri gwo nga biweddewo.
12Oligamba nti, “Nga nakyawa okulabulwa, n’omutima gwange ne gukyawa okunenyezebwa,
13era ne sigondera ddoboozi ly’abasomesa bange, wadde okussaayo omwoyo eri abo abampanga amagezi.
14Ntuuse ku njegoyego z’okuzikirira nga ndi wakati mu kuŋŋaaniro ly’ekibiina.”
15Onoonywanga amazzi ag’omu kidiba kyo, n’amazzi agava mu luzzi lwo goonoonywanga.
16Ensulo zo zisaanye okukulukutira mu nguudo, n’enzizi zo mu bifo ebigazi eby’omu kibuga?
17Leka bibeere bibyo wekka, bireme kugabanibwako b’otomanyiiko n’akamu.
18Kale leka ensulo yo ebeere n’omukisa, era osanyuke ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo.
19Ng’ennangaazi eyeeyagaza n’empeewo esanyusa, leka okusuuta kwe kukumalenga ennaku zonna era naye akwetoloozenga okwagala kwe.
20Lwaki mwana wange osendebwasendebwa omukazi omwenzi, n’ogwa mu kifuba ky’omukazi w’omusajja omulala?
21Kubanga Mukama alaba amakubo g’omuntu gonna, era n’akebera n’amakubo ge gonna.
22Ebikolwa by’omukozi w’ebibi bimufuukira omutego, era emiguwa gy’ebikolwa bye ebibi girimusibira ddala.
23Alifa, kubanga yagaana okwekuuma, era alizikirira olw’obusirusiru bwe obungi.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.