Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Nakkumu 3

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Zikusanze ggwe ekibuga eky’omusaayi! Kyonna ekijjudde eby’obulimba n’obunyazi, ekitaggwaamu banyagiddwa.
2Muwulire okuvuga kw’embooko, n’okuvuuma kwa namuziga z’amagaali n’ebigere by’embalaasi nga bwe bivuga n’amagaali nga gakubaganira mu nguudo!
3Laba eggye ery’embalaasi erirumba, n’ebitala ebitemagana, n’amafumu agamyansa. Abatuukiddwako ebisago nga bayitirivu, ne ntuumu ennene ez’emirambo egitamanyiddwa muwendo; abantu bagirinnyirira.
4Bino byonna biri bityo kubanga Nineeve yeeweerayo ddala okwetunda eri abalabe ba Katonda obutasalako, nga malaaya omukulu, kye kibuga ekikyaamu ekitali kyesigwa ekyawubisa ebirala, omukulu w’obufumu, ekyafuula amawanga abaddu baakyo olw’obwamalaaya bwakyo, n’olw’obulogo bwakyo.
5“Laba nkwolekedde,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “era nditikka engoye zo ne zidda ku mutwe gwo. Ensi zonna ziriraba obwereere bwo n’obwakabaka bwonna bulabe ensonyi zo.
6Ndikukanyugira kazambi, era ndikufuula ekyenyinyalwa ne nkufuula eky’okwelolera.
7Awo bonna abalikutunuulira balikwesamba ne bagamba nti, ‘Nineeve kifuuse matongo, ani anakikungubagira?’ Abalikikubagiza baliva wa?”
8Ggwe Nineeve ggw’osinga Tebesi ekyali kizimbiddwa ku mugga Kiyira ng’amazzi gakyetoolodde okukikuuma ku njuyi zonna? Olukomera lwakyo gwali mugga era amazzi ge gaali bbugwe waakyo.
9Esiyopya ne Misiri ze zaakiwagiranga. Ate nga Abapuuti n’ab’omu Libiya nabo nga bakiyamba.
10Kyawambibwa, ne kitwalibwa mu buwaŋŋanguse. Abaana bwakyo abawere babetentebwa mu ntandikwa ya buli luguudo. Abakungu baakyo baakubirwa obululu, n’abasajja be ab’amaanyi baasibibwa mu njegere.
11Nineeve naawe olitamiira, olyekweka ng’onoonya obuddukiro owone omulabe wo.
12Ebigo byo byonna biri ng’emitiini egiriko ebibala ebisooka okwengera; bwe ginyeenyezebwa ne bigwa mu kamwa k’oyo anaabirya.
13Laba abalwanyi bammwe balinafuwa ne batiitiira ng’abakazi. Enzigi z’ensi yo nzigule eri abalabe bo. Era omuliro gwokezza emikiikiro gyazo.
14Weenyweze bajja kukulumba! Weeterekere ku mazzi g’onoonywako. Nyweza ebisenge byo. Noonya ettaka olisambe oddaabirize ekisenge eky’amatoffaali.
15Omuliro gulikulya, ekitala kirikuzikiriza. Wenna oliriibwa ng’enzige bwe zirya ebirime. Mweyongere obungi ng’enseenene, mwale ng’enzige.
16Mwongedde ku bungi bwa basuubuzi bammwe okusinga emmunyeenye ez’oku ggulu. Naye ensi baligikaza okufaanana ng’enzige bwe zimalawo ensi ne ziryoka zibuuka.
17Abakuumi bammwe bali ng’enzige, n’abakungu bammwe ng’ebibinja by’enzige ezibeera ku bisenge ku lunaku olw’obutiti. Enjuba bw’evaayo zibuuka ne ziraga etamanyiddwa.
18Abasumba bo nga babongoota, ggwe kabaka wa Bwasuli, n’abakungu abeekitiibwa bagalamidde nga bawumuddeko. Abantu bo basaasaanira ku nsozi nga tewali n’omu abakuŋŋaanya.
19Tewali kisobola kuwonya kiwundu kyo ekinene bwe kityo. Bonna abawulira ebikuguddeko bakuba bukubi mu ngalo olw’okugwa kwo. Ani ataakosebwa olw’ettima lyo eringi? Kubanga muntu ki ataatuusibwako bukambwe bwo obwa buli kakedde?
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.