Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Matayo 7

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1“Temusalanga musango, nammwe muleme okusalirwa omusango.
2Kubanga nga bwe musalira abalala nammwe bwe mujjanga okusalirwa. Ekigera kye mugereramu, nammwe kye muligererwamu.”
3“Ofaayo ki ku kasasiro akali ku liiso lya muganda wo so nga ku liryo kuliko kisiki kiramba?
4Oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Leka nkuggyeko akasasiro akakuli ku liiso,’ so nga ku liryo kuliko kisiki?
5Munnanfuusi ggwe! Sooka oggyeko ekisiki ekiri ku liiso lyo olyoke olabe bulungi nga bw’oggyako akasasiro akali ku liiso lya muganda wo.”
6“Temuddiranga bintu bitukuvu ne mubiwa embwa. N’embizzi temuzisuuliranga mayinja ag’omuwendo omungi, kubanga zigenda kugalinnyirira, n’oluvannyuma zikyuke zibalume.”
7“Musabe, munaaweebwa. Munoonye, munaazuula. Era mukonkone munaggulirwawo.
8Kubanga buli asaba aweebwa, n’oyo anoonya, azuula, n’oyo akonkona aggulirwawo.”
9“Oba muntu ki mu mmwe singa omwana we amusaba omugaati, ayinza okumuwa ejjinja?
10Oba singa asabye ekyennyanja, kitaawe ayinza okumuwa omusota?
11Obanga mmwe abantu ababi musobola okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisingawo okubawa ebirungi bye mumusaba?
12Noolwekyo ebintu byonna bye mwagala abantu okubakoleranga, nammwe mubibakoleranga, kubanga ebyo bye biri mu mateeka ne mu bunnabbi.”
13“Muyingirire mu mulyango omufunda! Kubanga ekkubo erigenda mu kuzikirira ddene n’omulyango mugazi, n’abalonda ekkubo eryo bangi.
14Kubanga omulyango mufunda, n’ekkubo eridda eri obulamu ffunda, era n’abaliraba batono.”
15“Mwekuume abayigiriza ab’obulimba, abajja nga bambadde amaliba g’endiga, songa munda gy’emisege egigenda okubataagulataagula.
16Mulibalabira ku bikolwa byabwe, ng’omuti bwe mugutegeerera ku bibala byagwo. Omuntu tayinza kunoga mizabbibu ku busaana oba okunoga ettiini ku mweramannyo.
17Noolwekyo buli muti omulungi gubala ebibala ebirungi, naye omuti omuvundu gubala ebibala ebibi.
18Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, n’omuti omuvundu teguyinza kubala bibala birungi.
19Omuti gwonna ogutabala bibala birungi gutemebwa ne gusuulibwa mu muliro.
20Noolwekyo mulibategeerera ku bibala byabwe.”
21“Si bonna abampita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ be baliyingira obwakabaka obw’omu ggulu, wabula abo bokka abakola ebyo Kitange ali mu ggulu by’ayagala.
22Ku lunaku Iuli bangi baliŋŋamba nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, twayogeranga eby’obunnabbi mu linnya lyo, era ne tugoba ne baddayimooni mu linnya lyo, ne tukola n’ebyamagero bingi mu linnya lyo.’
23Ndibaddamu nti, ‘Sibamanyi, muve mu maaso gange, kubanga ebikolwa byammwe byali bibi.’ ”
24“Noolwekyo buli awulira ebigambo byange, n’abikola, alifaananyizibwa ng’omusajja ow’amagezi eyazimba enju ye ku lwazi.
25Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba enju eyo naye n’etegwa kubanga yazimbibwa ku lwazi.
26Naye buli awulira ebigambo byange n’atabikola, alifaananyizibwa ng’omusajja omusirusiru eyazimba ennyumba ye mu musenyu.
27Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba ennyumba eyo, n’egwa, n’okugwa kwayo ne kuba kunene.”
28Awo Yesu n’amaliriza ebigambo bye ebyo. Abantu bonna ne beewuunya nnyo olw’okuyigiriza kwe.
29Kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng’abannyonnyozi b’amateeka baabwe bwe baayigirizanga.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.