Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Matayo 1

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Luno lwe lulyo lwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi omwana wa Ibulayimu:
2Ibulayimu yazaala Isaaka, Isaaka n’azaala Yakobo, Yakobo n’azaala Yuda ne baganda be.
3Yuda n’azaala Pereezi ne Zeera mu Tamali, Pereezi n’azaala Kezirooni, Kezirooni n’azaala Laamu.
4Laamu yazaala Aminadaabu, Aminadaabu n’azaala Nasoni, Nasoni n’azaala Salumooni.
5Salumooni yazaala Bowaazi mu Lakabu, Bowaazi n’azaala Obedi mu Luusi. Obedi n’azaala Yese.
6Yese yazaala Kabaka Dawudi. Dawudi n’azaala Sulemaani mu eyali muka Uliya.
7Sulemaani yazaala Lekobowaamu, Lekobowaamu n’azaala Abiya, Abiya n’azaala Asa.
8Asa n’azaala Yekosafaati, Yekosafaati n’azaala Yolaamu, Yolaamu n’azaala Uzziya.
9Uzziya n’azaala Yosamu, Yosamu n’azaala Akazi, Akazi n’azaala Keezeekiya.
10Keezeekiya n’azaala Manaase, Manaase n’azaala Amosi, Amosi n’azaala Yosiya.
11Yosiya n’azaala Yekoniya ne baganda be mu kiseera eky’okutwalibwa e Babulooni.
12Nga bamaze okutwalibwa e Babulooni: Yekoniya n’azaala Seyalutyeri, Seyalutyeri n’azaala Zerubbaberi.
13Zerubbaberi n’azaala Abiwuudi, Abiwuudi n’azaala Eriyakimu, Eriyakimu n’azaala Azoli.
14Azoli n’azaala Zadooki, Zadooki n’azaala Akimu, Akimu n’azaala Eriwuudi.
15Eriwuudi n’azaala Eriyazaali, Eriyazaali n’azaala Mataani, Mataani n’azaala Yakobo.
16Yakobo n’azaala Yusufu, oyo ye bba wa Maliyamu eyazaala Yesu ayitibwa Kristo.
17Noolwekyo emirembe gyonna okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi gyali kkumi n’ena, era okuva ku Dawudi okutuuka ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni, emirembe kkumi n’ena, era okuva ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni okutuuka ku Kristo, nagyo emirembe kkumi n’ena.
18Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Maliyamu nnyina bwe yali ng’akyayogerezebwa Yusufu, era nga tebanaba kufumbiriganwa n’alabika ng’ali lubuto ku bwa Mwoyo Omutukuvu.
19Awo Yusufu eyali amwogereza, olwokubanga yali muntu mulungi n’asalawo mu mutima gwe okumuleka, naye ng’ayagala akikole mu kyama aleme kukwasa Maliyamu nsonyi.
20Naye bwe yali ng’agalamidde ku kitanda kye ng’akyabirowoozaako, n’afuna ekirooto; n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde w’ali, n’amugamba nti, “Yusufu, omwana wa Dawudi, totya kutwala Maliyamu okuba mukazi wo! Kubanga olubuto lw’alina yalufuna ku bwa Mwoyo Mutukuvu.
21Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga y’alirokola abantu bonna mu bibi byabwe.”
22Bino byonna byabaawo kisobole okutuukirira ekyayogerwa Mukama ng’ayita mu nnabbi we ng’agamba nti,
23“Laba omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wabulenzi, era aliyitibwa Emmanweri.” Amakulu gaalyo nti, “Katonda ali naffe.”
24Yusufu bwe yazuukuka, n’akola nga Malayika bwe yamulagira, n’atwala Maliyamu okuba mukazi we.
25Naye Yusufu n’atamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala Omwana. Yusufu n’amutuuma erinnya Yesu.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.