Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Malaki 2

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1“Kale nno, mmwe bakabona, ekiragiro kino kyammwe.
2Bwe mutaakyuse ku mpisa zammwe n’engeri zammwe, bwe mutaafeeyo kuwa linnya lyange kitiibwa,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “kale ndibasindikira ekikolimo era emikisa gyammwe girifuuka ekikolimo. Ate ddala mmaze okubakolimira kubanga ebikulu gye ndi temubitaddeeko mwoyo.
3“Kale laba, ndibonereza ezzadde lyammwe, mbasiige n’obusa mu maaso, obusa bwa ssaddaaka zammwe, era mbagobewo mu maaso gange.
4Olwo lwe mulimanya nga mbawadde ekiragiro kino, endagaano yange ne Leevi eryoke etuukirire,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
5“Endagaano eri mu mateeka ago yali egenderedde kuleeta bulamu na mirembe era n’embimuwa asobole okuntya, era n’antya n’ayimirira ng’atya erinnya lyange.
6Amateeka ag’amazima gali mu kamwa ke era nga tewali bulimba busangibwa mu kamwa ke. Yatambula nange mu mirembe ne mu butuukirivu era n’aggya bangi mu kibi.
7“Kubanga emimwa gy’abasumba gisaana okukuuma eby’amagezi ebya Katonda era abantu basaana okunoonya okutegeera okuva mu bo, kubanga be babaka ba Mukama ow’Eggye.
8Naye mwakyama ne muva mu kkubo; mwesittaza bangi olw’ebyo bye muyigiriza; mwayonoona endagaano ya Leevi,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
9“Noolwekyo nabafuula ekinyoomebwa era ekisekererwa mu maaso g’abantu bonna olw’obutagoberera makubo gange era musala emisango nga musaliriza.”
10Kale ffenna tetulina kitaffe omu? Si Katonda omu eyatutonda? Lwaki kale tetuli beesigwa eri bantu bannaffe, ne twonoona endagaano ya bakitaffe?
11Yuda takuumye bwesigwa n’eby’omuzizo ne bikolebwa mu Isirayiri ne mu Yerusaalemi. Kubanga Yuda yayonoona ekifo kya Mukama ekitukuvu, ky’ayagala ennyo, bwe yawasa omuwala wa lubaale.
12Buli muntu yenna akola kino, oba kabona oba muntu wa bulijjo, Mukama alimuggya mu kika kya Yakobo, newaakubadde ng’aleeta ebiweebwayo eri Mukama ow’Eggye!
13Ekirala kye mukola kye kino: Ekyoto kya Mukama mukijjuzza amaziga, nga mukaaba nga mukuba ebiwoobe kubanga ebiweebwayo byammwe takyabifaako.
14Kale mubuuza nti, “Lwaki tabifaako?” Kubanga Mukama yali mujulirwa wakati wo ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo, naye ggwe tewali mwesigwa, ng’olimbalimba newaakubadde nga yali munno era mukazi wo gwe walagaana naye endagaano.
15Katonda teyabafuula omu mu mwoyo? Era lwaki yabafuula omu? Kubanga yali anoonya ezzadde eriritya Katonda. Kale mwekuume nnyo waleme kubaawo agoba mukazi we, era alimbalimba mukazi we ow’omu buvubuka bwe.
16“Kubanga nkyawa abafumbo okwawukana,” bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, “n’omusajja ajooga mukazi we,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. Kale mwekuumenga mu mwoyo gwammwe mubeerenga beesigwa.
17Mukama mumukooyezza n’ebigambo byammwe. Naye mubuuza nti, “Tumukooyezza tutya?” Kubanga mwogera nti buli akola ekibi, mulungi mu maaso ga Mukama , era abasanyukira; oba nti, “Ali ludda wa Katonda ow’obwenkanya?”
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.