Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 12

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Mukama n’agamba Musa nti,
2“Abaana ba Isirayiri bagambe nti, ‘Omukazi bw’anaabanga olubuto, n’azaala omwana nga wabulenzi, omukazi oyo taabenga mulongoofu okumala ennaku musanvu, okufaanana nga bw’atabeera mulongoofu ng’ali mu kiseera ky’okulwala kw’abakazi okwa buli mwezi.
3Ku lunaku olw’omunaana omwana oyo omulenzi anaakomolebwanga.
4Ate omukazi anaalindanga ne wayitawo ennaku amakumi asatu mu ssatu alyoke atukuzibwe olw’omusaayi ogwamuvaamu ng’azaala. Taakwatenga ku kintu ekitukuvu wadde okuyingiranga mu watukuvu okutuusa ng’ennaku z’okutukuzibwa kwe ziweddeko.
5Naye bw’anaabanga azadde omwana wabuwala, omukazi taabenga mulongoofu okumala wiiki bbiri, nga bw’abeera ng’ali mu kiseera kye eky’okulwala kw’abakazi okwa buli mwezi. Ate anaalindanga ennaku nkaaga mu mukaaga alyoke alongoosebwe olw’omusaayi ogwamuvaamu ng’azaala.
6“ ‘Ennaku z’omukazi oyo ez’okutukuzibwa bwe zinaggwangako, bw’anaabanga azadde omwana mulenzi oba muwala, anaaleetanga eri kabona ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, omwana gw’endiga oguwezezza omwaka gumu obukulu okuguwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa, ng’enjiibwa ento oba ejjiba ng’ekiweebwayo olw’ekibi.
7Kabona anaabiwangayo eri Mukama okutangirira omukazi oyo; bw’atyo anaabeeranga mulongoofu olw’omusaayi ogwamuvaamu ng’amaze okuzaala. “ ‘Ago ge mateeka agakwata ku mukazi anaazaalanga omwana owoobulenzi oba owoobuwala.
8Bw’anaabanga tasobola kuwaayo mwana gwa ndiga, anaaleetanga bibiri bibiri ku bino: enjiibwa ento bbiri oba amayiba abiri, ekimu nga ky’ekiweebwayo ekyokebwa n’ekirala nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi. Mu ngeri eno kabona anaamutangiririranga, bw’atyo n’afuuka mulongoofu.’ ”
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.