Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Yobu 24

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1“Lwaki Ayinzabyonna tagera biseera? Lwaki abo abamumanyi tebalaba nnaku zaageze?
2Abantu bajjulula amayinja agalamba ensalo, ne balunda ebisolo bye babbye.
3Batwala endogoyi ya mulekwa ne batwala ennume ya nnamwandu ng’omusingo.
4Basindiikiriza omunaku ne bamuggya mu kkubo, ne bawaliriza abaavu bonna mu ggwanga okwekweka.
5Endogoyi ez’omu ddungu nga bwe zeeyisa, n’abaavu bagenda bategana nnyo nga balondalonda obumere; mu ddungu mwe balonderera emmere y’abaana baabwe.
6Essubi eririibwa ensolo zaabwe baliggya ku ttale lye, ne banoga n’emizabbibu gy’aboonoonyi.
7Olw’okubulwa engoye, basula bwereere; tebalina kye beebikka mu mpewo.
8Enkuba y’oku nsozi ebatobya, ne banywegera enjazi olw’okubulwa we beggama.
9Omwana atalina kitaawe bamusika ku mabeere; omwana omuwere ow’omwavu bamuwamba olw’ebbanja.
10Olw’okubulwa engoye bayita bwereere; betikka ebinywa by’emmere naye basigala tebalidde.
11Basogolera emizabbibu ku mayinja, ne basambira mu ssogolero, naye ne basigala nga balumwa ennyonta.
12Okusinda kw’abantu kuwulirwa mu kibuga, n’emmeeme z’abafunye ebisago zikaabira obuyambi. Naye Katonda talina gw’asinzisa musango.
13“Waliwo abo abajeemera omusana, abatamanyi makubo ge, abatasigala mu kwaka kwagwo.
14Omutemu agolokoka nga obudde buzibye n’atta omwavu n’ali mu kwetaaga; ekiro abbira ddala.
15Eriiso ly’omwenzi lirinda buzibe, ng’agamba nti, ‘Tewali liiso linandaba,’ n’abikka ne ku maaso ge.
16Mu kizikiza mwe basimira amayumba, kyokka emisana baba beggalidde. Tebaagala kitangaala.
17Eri abo bonna ekizikiza ekikutte bwe budde bwabwe obw’oku makya. Kubanga bakola omukwano n’ebitiisa eby’omu nzikiza.
18Bali ng’ebyovu ebiri kungulu ku mazzi, era omugabo gwabwe mukolimire mu nsi. Tewali musogozi n’omu alaga mu nnimiro zaabwe ez’emizabbibu.
19Nga ekyeeya n’ebbugumu bwe bimalawo amazzi agava mu muzira, aboonoonyi bwe batyo bwe bamalibwawo emagombe.
20Olubuto lunaamwerabiranga; envunyu eneemulyanga n’ewoomerwa. Tajjukirwenga nate, omukozi w’ebibi amenyeka ng’omuti.
21Bayiikiriza ne banyaga omugumba atazaala. Tebakolera nnamwandu bya kisa.
22Naye Katonda awalula ab’amaanyi olw’obuyinza bwe. Newaakubadde nga bakulaakulana, kyokka tebalina bukakafu ku bulamu bwabwe.
23Ayinza okubaleka ne babeera mu mirembe n’amaaso ge gabeera ku makubo gaabwe.
24Bayimusibwa akaseera katono, oluvannyuma nga tebakyaliwo. Bakkakkanyizibwa ne bakala ne baggyibwawo nga abalala bonna. Basalibwa ng’emitwe gy’ebirimba by’eŋŋaano.
25“Bwe kiba nga si bwe kiri, ani anannumiriza obulimba, n’afuula okwogera kwange okutaliimu?”
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.