Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Yokaana 21

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Ebyo bwe byaggwa, Yesu n’alabikira nate abayigirizwa be, ku nnyanja ey’e Tiberiya. Yabalabikira bw’ati:
2Simooni Peetero, ne Tomasi ayitibwa Didumo, ne Nassanayiri ow’e Kaana eky’e Ggaliraaya, ne batabani ba Zebbedaayo, n’abayigirizwa abalala babiri, bonna baali wamu.
3Simooni Peetero n’abagamba nti, “ŋŋenda kuvuba.” Ne bamugamba nti, “Ka tugende ffenna.” Ne bagenda ne basaabala mu lyato. Naye ekiro ekyo kyonna ne batakwasaayo kintu.
4Bwe bwali bukya, Yesu n’ayimirira ku lubalama, naye abayigirizwa ne batamutegeera.
5Yesu n’ababuuza nti, “Abaana, mukwasizzaayo?” Ne baddamu nti, “Nedda.”
6Yesu n’abagamba nti, “Kale musuule akatimba ku luuyi olwa ddyo olw’eryato, mujja ku kukwasa.” Awo ne basuula, naye ne batasobola kukannyulula olw’ebyennyanja ebingi bye baakwasa!
7Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga ennyo n’agamba Peetero nti, “Oyo Mukama waffe!” Simooni Peetero bwe yakiwulira ne yeesiba olugoye kubanga yali mu kakutu, ne yeesuula mu mazzi.
8Abayigirizwa abalala bo ne bajjira mu lyato nga basika akatimba akaalimu ebyennyanja. Tebaali wala n’olukalu, baali nga mita kyenda.
9Awo bwe baatuuka ne basanga omuliro ogw’amanda nga gwaka, nga kuliko ekyennyanja n’omugaati.
10Yesu n’abagamba nti, “Muleete ku byennyanja bye muva okukwasa kaakano.”
11Awo Simooni Peetero n’agenda n’awalula akatimba n’akatuusa ku lukalu, nga kajjudde ebyennyanja ebinene kikumi mu ataano mu bisatu. Newaakubadde nga byali bingi bwe bityo naye akatimba tekaakutuka.
12Yesu n’abagamba nti, “Mujje mulye ekyenkya.” Naye ku bayigirizwa tewaali n’omu yategana ku mubuuza nti, “Ggwe ani?” Kubanga bonna baamanya nti ye Mukama waffe.
13Yesu n’atoola omugaati n’abagabira era n’ebyennyanja n’akola bw’atyo.
14Guno gwe mulundi ogwokusatu Yesu gwe yalabikira abayigirizwa be, ng’amaze okuzuukira.
15Bwe baamala okulya, Yesu n’agamba Peetero nti, “Simooni omwana wa Yokaana, onjagala okusinga bano?” Peetero n’addamu nti, “Ddala, omanyi nga nkwagala nnyo.” Yesu n’amugamba nti, “Kale liisanga abaana b’endiga zange.”
16Yesu n’amubuuza omulundi ogwokubiri nti, “Simooni omwana wa Yokaana, ddala onjagala?” Peetero n’addamu nti, “Ddala, Mukama wange, omanyi nga nkwagala.” Yesu n’amugamba nti, “Kale lundanga endiga zange.”
17Yesu n’abuuza Peetero omulundi ogwokusatu nti, “Simooni omwana wa Yokaana, onjagala?” Peetero n’anakuwala kubanga Yesu yamubuuza omulundi ogwokusatu nti, “Onjagala?” Peetero n’amuddamu nti, “Mukama wange ggwe omanyi buli kimu, omanyi nga nkwagala.” Yesu n’amugamba nti, “Kale liisanga endiga zange.
18Bwe wali ng’okyali muvubuka wasobolanga okukola buli kye wayagalanga era ng’ogenda buli gye weetaaganga naye bw’olikaddiwa oligolola emikono gyo, omuntu omulala n’akusiba n’akutwala gy’otoyagala.”
19Ekyo Yesu yakyogera ng’alaga enfa Peetero gy’alifaamu okuweesa Katonda ekitiibwa. Awo n’amugamba nti, “Ngoberera.”
20Peetero bwe yakyuka, n’alaba omuyigirizwa oli Yesu gwe yayagalanga ennyo nga naye agoberera. Oyo ye muyigiriza eyagalamira okumpi n’ekifuba kya Yesu nga balya ekyekiro eky’enkomerero, amale abuuze Yesu nti, “Mukama waffe ani agenda okukulyamu olukwe?”
21Peetero bwe yamulaba kwe kubuuza Yesu nti, “Mukama wange, ate ono aliba atya?”
22Yesu n’amugamba nti, “Bwe njagala abeerawo okutuusa lwe ndikomawo, ofaayo ki? Ggwe goberera Nze.”
23Awo ekigambo ekyo ne kibuna mu booluganda nti omuyigirizwa oyo talifa. Naye Yesu teyagamba nti omuyigirizwa oyo talifa, wabula yagamba bugambi nti, “Bwe njagala abeerawo okutuusa lwe ndikomawo, ofaayo ki?”
24Oyo ye muyigirizwa akakasa bino era ye yabiwandiika. Era tumanyi nga by’ategeeza bya mazima.
25Waliwo n’ebintu ebirala bingi Yesu bye yakola ebitaawandiikibwa. Era singa nabyo byawandiikibwa kinnakimu, ndowooza nga n’ensi zonna tezandigiddemu bitabo ebyandiwandiikiddwa.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.