Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 43

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Yeremiya bwe yamala okutegeeza abantu ebigambo byonna Mukama Katonda waabwe bye yamutuma okubagamba,
2Azaliya mutabani wa Kosaaya ne Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abasajja bonna ab’amalala ne bagamba Yeremiya nti, “Olimba! Mukama Katonda wo takutumye kugamba nti, ‘Temugenda Misiri kusenga eyo.’
3Naye Baluki mutabani wa Neriya y’akusendasenda otugabule mu mukono gw’Abakaludaaya, batutte oba batutwale mu buwaŋŋanguse e Babulooni.”
4Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi ba magye bonna n’abantu bonna ne bajeemera ekiragiro kya Mukama eky’okusigala mu nsi ya Yuda.
5Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi ba magye ga Yuda bonna ne bakulembera abantu ba Yuda abaali basigaddewo nga bakomyewo okuva mu mawanga gonna gye baali baddukidde okubeera mu nsi ya Yuda.
6Ne batwala n’abasajja bonna, n’abakazi n’abaana n’abawala ba kabaka, Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye lya kabaka w’e Babulooni be yali alekedde Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, ne nnabbi Yeremiya ne Baluki mutabani wa Neriya.
7Awo ne bayingira e Misiri nga bajeemedde Mukama , ne bagenda okutuukira ddala e Tapaneese.
8Bwe baba bali e Tapaneese, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti,
9“Twala amayinja amanene ogaziike mu bbumba mu lubalaza olw’amatoffaali ku mulyango gw’olubiri lwa Falaawo e Tapaneese, ng’Abayudaaya bonna balaba.
10Obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nditumya omuddu wange Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, era nditeeka entebe ye ey’obwakabaka ku mayinja gano ge nziise wano. Ku go kwalikuba eweema ye ey’obwakabaka.
11Alijja n’alumba Misiri, atte abo ab’okufa, awambe n’abo ab’okuwambibwa, n’ab’okuttibwa n’ekitala battibwe n’ekitala.
12Alikoleeza omuliro ku masabo ga bakatonda b’e Misiri, n’abatwala mu busibe nga alese amasabo gaabwe agookezza. Ng’omulunzi w’endiga bwe yeezingirira ekyambalo kye, bw’atyo bw’alyezingirira ensi y’e Misiri n’avaayo nga tewali kabi konna kamutuuseeko.
13Alimenyamenya empagi ezaawongebwa mu ssabo ly’enjuba mu Misiri, n’ayokya n’amasabo ga bakatonda b’e Misiri.’ ”
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.