Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 30

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya nti,
2“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Wandiika ku muzingo ebigambo byonna bye njogedde naawe.
3Ennaku zijja, lwe ndikomyawo abantu bange Isirayiri ne Yuda okuva mu busibe, mbazzeeyo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe babeere omwo,’ bw’ayogera Mukama .”
4Bino bye bigambo Mukama bye yayogera ebikwata ku Isirayiri ne Yuda nti,
5“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “ ‘Emiranga egy’okutya giwulirwa, bulabe teri mirembe.
6Mubuuze mulabe. Omusajja alumwa okuzaala? Kale lwaki ndaba buli musajja ow’amaanyi ng’atadde emikono gye ku lubuto ng’omukazi alumwa okuzaala, buli muntu mu maaso yenna asiiwuuse ng’agenda okufa?
7Nga luliba lwa nnaku olunaku olwo! Tewali lulirufaanana. Kiriba kiseera kya kabi eri Yakobo, naye aliwona n’akiyitamu.
8“ ‘Olulituuka ku lunaku olwo, ndimenya ekikoligo okuva mu nsingo zaabwe era ne mbasaleko amasamba, ab’amawanga nga tebakyaddayo kubafuula baddu,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
9Wabula, bajja kuweerezanga Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe gwe ndibayimusiza.
10“ ‘Noolwekyo totya, ggwe Yakobo omuweereza wange, toggwaamu maanyi ggwe Isirayiri,’ bw’ayogera Mukama . ‘Ddala ddala ndibalokola okubaggya mu kifo eky’ewala, nziggye ezzadde lyammwe okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse. Yakobo aliddamu okuba n’emirembe n’obutebenkevu, era tewali n’omu alimutiisatiisa.
11Ndi wamu nammwe era ndibalokola, wadde nga ndizikiririza ddala amawanga gye mbagobedde, siribazikiririza ddala mmwe,’ bw’ayogera Mukama . Ndibakangavvula n’obwenkanya, siribaleka nga temubonerezebbwa n’akatono.
12“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “ ‘Ekiwundu kyo tekiwonyezeka, Ebisago byo si byakuwona.
13Tewali n’omu wa kukuwolereza, tewali ddagala lya kiwundu kyo, toowonyezebwe.
14Abakuyamba bonna bakwerabidde tebakufaako. Nkukubye ng’omulabe bwe yandikoze ne nkubonereza ng’owettima bwe yandikoze, kubanga omusango gw’ozzizza munene nnyo n’ebibi byo bingi ddala.
15Lwaki okaaba olw’ekiwundu kyo, obulumi bwo obutaliiko ddagala? Olw’okwonoona kwo okunene n’ebibi byo ebingi ennyo nkuleeseeko ebintu bino.
16“ ‘Naye bonna abakumira nabo baliriibwa, abalabe bo bonna baligenda mu buwaŋŋanguse. Abo abaakunyaga balinyagibwa, abo abaakwelula balyelulwa.
17Naye ndikuzzaawo owone, ndiwonya ebiwundu byo,’ bw’ayogera Mukama , ‘kubanga oyitibwa eyasuulibwa, Sayuuni atalina n’omu amufaako.’
18“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “ ‘Ndizzaawo eby’obugagga by’eweema za Yakobo era mbeere n’ekisa ku kifo kyammwe kye mwabeerangamu. Ekibuga kirizimbibwa awaali amatongo gaakyo, n’olubiri luzzibwe mu kifo kyalwo ekituufu.
19Mu bo mulivaamu ennyimba ez’okwebaza era n’eddoboozi ery’okujaguza, ndibaaza, era tebaliba batono, ndibawa ekitiibwa, tebalinyoomebwa.
20Abaana baabwe baliba nga bwe baali mu nnaku ez’edda, era n’ebitundu byabwe mwe baabeeranga bizimbibwe nga ndaba. Ndibonereza bonna ababanyigiriza.
21Omukulembeze waabwe aliba omu ku bo; omukulembeze waabwe aliyimuka okuva mu bo. Ndimuleeta wendi era musembeze kumpi nange, kubanga ani oyo alyewaayo okunyiikira okubeera okumpi nange?’ bw’ayogera Mukama .
22‘Noolwekyo munaabeeranga bantu bange, nange n’abeeranga Katonda wammwe.’ ”
23Laba, omuyaga gwa Mukama gulikuntira mu kiruyi, empewo ey’amaanyi eyeetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi.
24Obusungu bwa Mukama obubuubuuka tebujja kukoma okutuusa ng’atuukirizza ekigendererwa ky’omutima gwe. Mu nnaku ezirijja, kino mulikitegeera.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.