Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 24

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’abakungu, n’abaweesi n’abafundi ba Yuda bwe baatwalibwa kabaka Nebukadduneeza mu buwaŋŋanguse mu Babulooni okuva mu Yerusaalemi, Mukama yandaga ebibbo bibiri eby’emitiini nga biteekeddwa mu maaso ga yeekaalu ya Mukama .
2Ekibbo ekimu kyalimu ettiini nga nnungi nnyo ng’eyo esooka okwengera, n’ekibbo ekirala kyalimu ettiini nga mbi nnyo, ezitayinza kuliika.
3Mukama n’ambuuza nti, “Olaba ki Yeremiya?” Ne muddamu nti, “Ndaba ettiini. Ennungi nga nnungi nnyo naye embi nga mbi nnyo ezitayinza kuliika.”
4Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nti,
5“Bw’ati bw’ayogera Mukama , Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ng’ettiini zino ennungi, ndaba nti abawaŋŋanguse b’omu Yuda balungi, be natwala okuva mu kifo kino eri mu nsi ey’Abakaludaaya.
6Amaaso gange gajja kubalabirira olw’obulungi bwabwe, era nzija kubakomyawo mu nsi eno. Nzija kubazimba era nneme kubamenyaamenya: nzija kubasimba nneme kubakuula.
7Ndibawa omutima bammanye, nti nze Mukama . Balibeera bantu bange, nange ndibeera Katonda waabwe, kubanga balidda gye ndi n’omutima gwabwe gwonna.
8“ ‘Naye ng’ettiini embi, embi ennyo ezitayinzika kuliika, bwe ntyo bwe nnaakola Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abo abaasigalawo mu Yerusaalemi, oba abaasigalawo mu nsi eno oba abo ababeera mu Misiri,’ bw’ayogera Mukama .
9‘Ndibafuula kyennyinnyalwa era eky’omuzizo eri amawanga g’ensi, eky’okusekererwa era olugero obugero, ekintu eky’okusekererwa era eky’okukolimirwanga yonna gye nnaabagoberanga.
10Ndireeta ekitala, n’ekyeya, ne kawumpuli okubalumba okutuusa lwe balizikirira babule ku nsi gye nabawa ne bakitaabwe.’ ”
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.