Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Yakobo 4

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Kiki ekireeta entalo n’okulwanagana mu mmwe? Si lwa kubanga mu mitima gyammwe mujjudde ebintu bingi nnyo ebibi bye mwagala?
2Mwagala ebintu ne mutabifuna ne muba n’obuggya, ne mulyoka muttiŋŋana so ne mutasobola kubifuna, nga mulwana era nga muyomba kubanga mulemeddwa okubisaba.
3Era ne bwe mubisaba, temubifuna kubanga ekigendererwa kyammwe kikyamu; mugenderera kubikozesa ku masanyu gokka.
4Mmwe abenzi temumanyi ng’okuba mikwano gy’ensi bulabe eri Katonda? Noolwekyo omuntu yenna bw’alondawo okuba mukwano gw’ensi afuuka mulabe wa Katonda.
5Oba mulowooza nti Ekyawandiikibwa tekiba na makulu bwe kigamba nti, “Omwoyo gwe yassa mu ffe, atulabirira n’okwagala okujjudde obuggya”?
6Kyokka Omwoyo omukulu oyo era agaba ekisa kingi. Kyekiva kigamba nti, “Katonda alwana n’ab’amalala naye abawombeefu abawa ekisa.”
7Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga.
8Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi b’ebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga.
9Mukungubage, mukube ebiwoobe era mukaabe. Okuseka kwammwe kufuuke okukungubaga, n’essanyu lifuuke okunakuwala.
10Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.
11Abooluganda, temugeyaŋŋananga, era buli omu aleme kwogera bubi ku munne newaakubadde okusalira munne omusango. Bwe mukikola muba mulwanyisa etteeka era musalira etteeka omusango. Bw’osalira etteeka omusango, oba totuukiriza tteeka wabula obeera musazi wa musango.
12Oyo yekka eyateeka amateeka y’asala omusango. Era y’asalawo okulokola oba okuzikiriza. Kale, osinziira ku ki okusalira muliraanwa wo omusango?
13Muwulire mmwe abagamba nti, “Leero oba enkya nzija kugenda egindi maleyo omwaka gumu, era ntandikeyo omulimu ogunanfunyisa ensimbi ennyingi.”
14Mumanyidde ku ki ebigenda okubaawo enkya oba obulamu bwammwe bwe bunaaba? Kubanga ebbanga lye mumala nga muli balamu liri ng’olufu olulabika ate mangwago ne lubula.
15Kino kye musaanira okwogera nti, “Katonda bw’anaaba ng’asiimye tuliba balamu ne tukola kino oba kiri.”
16Bwe mutakola mutyo muba mwekuluntaza olw’entegeka zammwe, songa okwekuluntaza okw’engeri eyo tekusanyusa Katonda.
17Okumanya ekituufu ekiteekwa okukolwa, naye ne mutakikola, kuba kwonoona.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.