Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Isaaya 61

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze, kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi, antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese. Okulangirira eddembe eri abawambe, n’abasibe bateebwe bave mu makomera.
2Okulangirira omwaka gwa Mukama ogw’okulabiramu obulungi bwe; olunaku lwa Mukama olw’okuwalanirako eggwanga era n’okuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga.
3Okugabirira abo bonna abali mu Sayuuni abakungubaga, okubawa engule ey’obubalagavu mu kifo ky’evvu, n’amafuta ag’essanyu mu kifo ky’ennaku. Ekyambalo ky’okutendereza mu kifo ky’omwoyo w’okukeŋŋeentererwa balyoke bayitibwe miti gy’abutuukirivu, ebisimbe bya Mukama , balyoke baweebwe ekitiibwa.
4Baliddamu bazimbe ebyali bizise, balirongoosa ebibuga ebyali byerabirwa edda.
5Abaamawanga balibalundira ebisibo byammwe, abagwira babakolere mu nnimiro zammwe ne mu nnimiro z’emizabbibu.
6Era muyitibwe bakabona ba Mukama , abantu baliboogerako ng’abaweereza ba Mukama , mulirya obugagga bw’amawanga, era mu bugagga bwabwe mwe mulyenyumiririza.
7Mu kifo ky’ensonyi, abantu bange baliddizibwawo emirundi ebiri. Mu kifo ky’okuswala basanyuke olw’ebyo bye balifuna era balifuna omugabo gwa mirundi ebiri, essanyu lyabwe liribeerera emirembe gyonna.
8“Kubanga nze, Mukama , njagala obwenkanya, nkyawa okunyaga era n’obutali butuukirivu. Mu bwesigwa bwange ndibasasula era nkole nabo endagaano ey’emirembe n’emirembe.
9N’ezzadde lyabwe liritutumuka nnyo mu mawanga n’abaana baabwe eri abantu. Abo bonna abalibalaba balibamanya, nti bantu Mukama be yawa omukisa.”
10Nsanyukira nnyo mu Mukama , emmeeme yange esanyukira mu Katonda wange. Kubanga annyambazizza ebyambalo eby’obulokozi era n’anteekako n’omunagiro ogw’obutuukirivu, ng’omugole omusajja bw’ayambala engule nga kabona, ng’omugole omukazi bw’ayambala amayinja ge ag’omuwendo.
11Kuba nga ettaka bwe livaamu ebimera, era ng’ennimiro bwereetera ensigo okumeruka, bw’atyo Mukama Katonda bwalireeta obutuukirivu n’ettendo okumeruka, ensi zonna zikirabe.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.