Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Isaaya 56

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Mukolenga obwenkanya era ebituufu, kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja, n’obutuukirivu bwange bunatera okubikkulibwa.
2Alina omukisa omuntu akola ekyo, n’omwana w’omuntu akinyweererako. Akwata ssabbiiti obutagyonoona, n’akuuma omukono gwe obutakola kibi na kimu.”
3Era ne munnaggwanga eyeegatta ku Mukama tayogeranga nti, “ Mukama , oboolyawo alinjawula ku bantu be,” so n’omulaawe okugamba nti, “Ndi muti mukalu.”
4Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, “Eri abalaawe abakwata ssabbiiti zange ne basalawo okugoberera ebyo ebinsanyusa, ne bakuuma endagaano yange,
5amannya gaabwe galijjukirwa mu yeekaalu yange mu bisenge byamu, ng’ekijjukizo n’okusinga bwe mwandibadde n’abaana aboobulenzi n’aboobuwala. Ndibawa erinnya eritaliggwaawo ery’emirembe n’emirembe.
6N’abo bannaggwanga abasalawo okwegatta ku Mukama , okumuweereza era n’okwagala erinnya lya Mukama era n’okubeera abaweereza be, abakwata ssabbiiti ne batagyonoona era ne banyweza endagaano yange,
7bano ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu era ne mbawa essanyu mu nnyumba yange ey’okusabiramu. Ebiweebwayo byabwe ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe birikkirizibwa ku kyoto kyange. Kubanga ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabiramu eri amawanga gonna.”
8Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna, akuŋŋaanya Abayisirayiri abaawaŋŋangusibwa nti, “Ndikuŋŋaanyaayo abantu abalala ng’oggyeko abantu bange aba Isirayiri be nkuŋŋaanyizza.”
9Mukama agamba amawanga amalala okujja ng’ensolo ez’omu nsiko, galye abantu be.
10Kubanga abakulembeze ba Isirayiri bazibe ba maaso, bonna tebalina magezi, bonna mbwa ezitasobola kuboggola, zibeera mu kuloota nakugalaamirira ezaagala okwebaka obwebasi.
11Embwa ezirina omululu omuyitirivu ezitakkuta. Basumba abatayinza kutegeera, bonna abakyamye mu makubo gaabwe; buli muntu ng’afa ku kwenoonyeza ky’anaalya.
12Bagambagana nti, “Mujje, leka tukime omwenge tunywe tutamiire. N’olw’enkya lunaku ng’olwa leero, oba n’okusingawo.”
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.