Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Isaaya 46

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Beri avunnama, Nebo akutamye! Ebifaananyi bya bakatonda baabwe biteekeddwa ku nsolo ez’omu nsiko, era ne ku nte. Ebifaananyi bya bakatonda baabwe migugu mizito ddala ku ndogoyi ezikooye.
2Bikutamye byonna bivuunamye. Tebiyinza kuyamba ku mbeera, byo byennyini bitwaliddwa mu busibe.
3“Mumpulire mmwe, ennyumba ya Yakobo n’abantu bonna abasigaddewo mu nnyumba ya Isirayiri. Mmwe be nnalera okuva lwe mwava mu lubuto, be nasitula okuva lwe mwazaalibwa.
4Ne mu bukadde bwammwe nzija kusigala nga ye nze Nzuuyo. Ne bwe muliba mulina envi nnaabasitulanga. Nze nabakola era nze nnaabawekanga. Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga.
5“Ani gwe mulinfaananya era gwe mulinnenkanya era gwe mulingerageranyaako tufaanane?
6Eriyo abaggya zaabu ennyingi mu nsawo zaabwe ne bapima ne ffeeza ku minzaani. Olwo ne bapangisa omuweesi wa zaabu n’agiweesaamu katonda waabwe, ne bagwa wansi ne basinza.
7Katonda waabwe ne bamusitulira ku kibegabega, ne bamuwa ekifo w’anaayimiriranga. N’ayimirira awo, n’atava mu kifo kye. Oli ne bw’amukaabirira tayinza kumuddamu, tayinza kumuwonya mu mitawaana gye.
8“Mujjukire kino mmwe, mulowooze mu mitima gyammwe. Mwekube mu kifuba, mmwe abajeemu.
9Mujjukire ebigambo ebyasooka eby’edda ennyo. Kubanga nze Katonda, teri mulala. Nze Katonda, teri ali nga nze;
10alanga ku ntandikwa ebigenda okubaawo. Okuva ku mirembe egy’edda ennyo, nalanga ebintu ebitannabaawo, nga ŋŋamba nti, ‘Enteekateeka zange zijja kubaawo era ndituukiriza byonna bye nategeka.’
11Mpita ekinyonyi ekikwakkula ebiramu ebirala. Omusajja ava ebuvanjuba mu nsi eyewala, anaakola bye njagala. Weewaawo njogedde era nnaatuukiriza. Nga bwe nategeka bwe nnaakola.
12Mumpulirize mmwe abalina emitima emikakanyavu, abakyama ennyo ne bava mu kkubo ly’obutuukirivu.
13Nsembeza kumpi obutuukirivu bwange, tebuli wala. N’obulokozi bwange tebuulwewo. Ndireeta obulokozi mu Sayuuni, ne nzizaawo ekitiibwa kyange mu Isirayiri.”
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.