Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Isaaya 35

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Eddungu n’ensi enkalu birijaguza; Eddungu lirisanyuka ne limeramu ebintu. Ebimuli ebifaanana ng’ejjirikiti
2birimeruka, birijaguza nnyo ne biwowogana n’essanyu mu ddoboozi ery’omwanguka. Ekitiibwa kya Lebanooni kirigiweebwa, ekitiibwa kya Kalumeeri ne Saloni; baliraba ekitiibwa kya Mukama , ekitiibwa kya Katonda waffe.
3Muzzeemu amaanyi emikono eminafu, n’amaviivi agajugumira mugagumye.
4Mugambe abo abalina omutima omuti nti, Mubeere n’amaanyi temutya: laba Katonda wammwe alijja; alibalwanirira, alage abalabe bammwe obusungu obw’Obwakatonda, era alibalokola.
5Olwo amaaso g’abazibe galiraba, era n’amatu ga bakiggala galigguka;
6omulema alibuuka ng’ennangaazi, n’olulimi lw’abatayogera luliyimba n’essanyu. Amazzi galifubutuka ne gakulukutira mu lukoola n’emigga mu ddungu.
7N’omusenyu ogwokya gulifuuka ekidiba, n’ensi eyakala edda n’etiiriika ensulo ez’amazzi. Ebibe we byagalamiranga walimera omuddo, n’essaalu, n’ebitoogo.
8Era eribaayo oluguudo olunene, n’ekkubo, eririyitibwa Ekkubo Ettukuvu. Abatali balongoofu tebaliriyitamu, liriba ly’abali abalongoofu, kubanga abasirusiru abatali balongoofu tebaliriyitamu.
9Teribaayo mpologoma, so teririnnyayo nsolo yonna nkambwe; tezirirabikayo, naye abanunule balitambulira eyo.
10N’abantu ba Mukama abaanunulibwa balikomawo, ne bajja mu Sayuuni nga bayimba, n’essanyu eritaggwaawo nga libajjudde. Balifuna essanyu lingi nnyo n’okujaguza, okunakuwala n’okusinda nga biggweereddewo ddala.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.